All Africa Senior Badminton Championships:
Uganda 5-0 Mozambique
Uganda etandise na buwanguzi obw’omuggundu mu mpaka za badminton eza All Africa Senior Badminton Championships ezibumbujjira mu South Afrika.
Baasookedde ku Mozambique bwe bali mu kibinja B ne bagiwangula ku bugoba (5-0). Empaka ziri mu kibuga Johannesburg mu South Afrika nga zizannyibwa okuva nga February 13-19.
Abazannyi ba Uganda abalina obumanyirivu okuli; Brian Kasirye ne Husina Kobugabe eyali kapiteeni omwaka oguwedde nga Uganda ewangula feeza mu mpaka za Thomas and Uber Cup mu Kampala be bamu ku bakulembedde okuyamba Uganda kuwangula oluzannya olusoose.
Fadila Shamika (ku kkono) ne Brian Kasirye.
Abazannyi abalala abali ku ttiimu eno nga baagenda mu mizannyo gya Commonwealth Games e Birmingham kuliko; Fadilah Shamika ne Tracy Naluwooza abeegattiddwaako Gladys Mbabazi mu bakazi.
Abasajja kuliko; Amos Muyanja (kapiteeni), Muzafar Lubega, Expedito Emudu ne Augustus Owunyi. Mu nzannya ezagguddewo, Kasirye ne Kobugabe baawangudde enzannya za ssekinnoomu.
Mu basajja, Muyanja yeegasse ne Kenneth Mwambu okuwangula mu basajja babiri (double) ate Kasirye ne yeegatta ne Shamika okuwangula oluzannya lw’ababiri omukazi n’omusajja (mixed double).
Mu nzannya za babiri ku babiri abakazi, Mbabazi yeegasse ne Shamika ne bawangula. Amawanga 13 ge geetabye mu mpaka zino nga mu kibinja A mulimu Algeria, Zimbabwe Nigeria ne Lesotho ate nga mu kibinja B mulimu Misiri abaakiwangula mu 2021, Zambia ne Cameroon ate nga mu kibinja D mulimu Mauritius, Reunion ne Botswana.
Uganda yakwata kyakusatu mu mpaka zino ze yategeka mu Lugogo Indoor Arena mu 2021 nga zaawangulwa Misiri ate Algeria n’ekwata ekyokubiri.
Eky’enjawulo nti omwaka guno aba Uganda Badminton Federation (UBA) baasudde omutendesi William Kabindi ne batwala Ivan Karimunda. Ttiimu yamaze mu nkambi wiiki bbiri ku yunivasite e Ndejje.