Ebyemizannyo

Wout Weghorst yeegasse ku ManU ku looni

OMUTEEBI Wout Weghorst amalirizza eby'okweggatta ku Man U ku bwazike; Avudde mu Besiktas ey'e Turkey gy'abadde ku looni okuva mu Burnley eya Bungereza.

Wout Weghorst yeegasse ku ManU ku looni
By: Wilson Ssemmanda, Journalists @New Vision

ManU ewadde Besiktas obukadde bwa Paawundi 2 n'ekitundu olw'okugiriyirira okuggyayo omuzannyi ono kubanga ekiseera kye kibadde tekinnaggwaako ate era ManU n'esasula Burnley obukadde bwa Paawundi 2.6 olw'okugiwola Weghorst agenda okubazannyira okutuusa ku nkomerero ya sizoni eno.

Bw'abadde yaakassa omukono ku ndagaano, Weghorst alaze essanyu n'agamba nti kya muwendo gy'ali okwambalako ku mujoozi gwa ManU era wa kuwaayo buli ky'asobola okulaba ng'akola ekimuleesezza.

Wano Weghorst Ne Banne Baali Bajaganya Ggoolo Ye Eyookubiri Gye Yateeba Argentina Mu World Cup Awedde

Wano Weghorst Ne Banne Baali Bajaganya Ggoolo Ye Eyookubiri Gye Yateeba Argentina Mu World Cup Awedde

Newankubadde waabaddewo essuubi nti Omudaaki ono yandyetaba mu mupiira gwa leero nga ManU ettunka ne Man City awaka ku Old Trafford naye tekyasobose olw'okuba okumaliriza emisoso kyatutte obudde obuwerako era asuubirwa kutandikira ku mupiira gwa Crystal Palace ogunaabeerawo ku Lwokusatu lwa wiiki ejja.

Mu Besiktas Weghorst ateebeddeyo ggoolo mwenda(9) n'akola n'ennyamba nnya(4) mu mipiira 18.

Weghorst N'omutendesi Ten Hag Nga Yaakateeka Omukono Ku Ndagaano1

Weghorst N'omutendesi Ten Hag Nga Yaakateeka Omukono Ku Ndagaano1

Weghost 30, azannyidde ttiimu ye ey'eggwanga emipiira 19 n'ateeberamu ggoolo ttaano (5), omuli n'ebbiri ze yateeba mu mpaka za 2022 Qatar World Cup ng'ekirindiriddwa kwe kulaba enjawulo gy'anaaleeta mu ManU.

Akadirisa ka January ka kuggulwawo nga January 1, 2023 nga ka kuggalwawo ku Lwokubiri nga January 31, 2023