Owa Uganda Martyrs ayagala ngatto y'abateebi mu y'abakazi
Mar 07, 2023
Nagadya abadde aludde okuteeba, agamba nti ku mulundi guno ayagala ngatto y’abateebi mu liigi kuba sizoni eno nnyangu nnyo olw’abateebi b’avuganya nabo okuvumbeera.

NewVision Reporter
@NewVision
CATHERINE Nagadya, kapiteeni wa Uganda Martyrs ayagala ngatto y’abateebi oluvannyuma lw’okuteeba ggoolo bbiri ku wiikendi.
Nagadya abadde aludde okuteeba, agamba nti ku mulundi guno ayagala ngatto y’abateebi mu liigi kuba sizoni eno nnyangu nnyo olw’abateebi b’avuganya nabo okuvumbeera.
Sizoni ewedde, Hasifah Nassuuna ng’akyazannyira mu UCU Lady Cardinals ye yasinga okulengera obutimba ne ggoolo 16 wabula sizoni eno alina ggoolo bbiri Nagadya ky’agamba nti ku mulundi guno ayagala kukola byafaayo.
Mu kaseera kano, Nagadya ali ku ggoolo nnya era y’akyasinze okukolera banne emikisa egivaamu ggoolo nga yaakakola emikisa 10 bukya liigi etandika sizoni eno.
Ono yateebye ggoolo bbiri ezaabawadde obuwanguzi nga bamegga She Corporate ku wiikend ne banywerera mu kyokubiri ku bubonero 22.
No Comment