Nkozi ekyalidde Unik n'amalibu 2
Oct 06, 2024
UGANDA Martyrs University Nkozi, bakyampiyoni ba liigi ya yunivasite (2017 ne 2022), wiikendi eno bakyalidde University of Kisubi (Unik) e Ntebe n’eddibu ly’abazannyi babiri empagiruwaga abaagenze okuzannya semi z’Amasaza.

NewVision Reporter
@NewVision
Ssande mu liigi ya yunivasite;
Unik – Uganda Martyrs, e Ntebe
UGANDA Martyrs University Nkozi, bakyampiyoni ba liigi ya yunivasite (2017 ne 2022), wiikendi eno bakyalidde University of Kisubi (Unik) e Ntebe n’eddibu ly’abazannyi babiri empagiruwaga abaagenze okuzannya semi z’Amasaza.
Omuzibizi Joseph Kayondo, omu ku baateebedde Nkozi ng’ekuba Muni (2-0) wiiki ewedde, ali ku ttiimu ya Buddu ettunka ne Kyaddondo, ate Sarafa Mukiibi ali mu Buweekula ettunka ne Kyaggwe e Mukono.
Sizoni ewedde, Uganda Martyrs yalumba Unik e Ntebe n’ebakubirawo (2-1) ate Unik bwe yakyala e Nkozi, baagiwuttulirayo (5-0) era teyava mu kibinja. Uganda Martyrs yaggyibwamu Nkumba ku ‘quarter’. Unik enoonya wiini esooka sizoni eno mu kibinja E oluvannyuma lw’okukubwa International University of East Africa (2-1) e Kansanga wiiki ewedde. Uganda Martyrs y’ekulembedde ekibinja E n’obubonero busatu, IUEA nayo busatu mu kyokubiri ate Unik ne Muni tebalinaayo kabonero.
No Comment