Olugave n'Endiga zirinze ssaawa okulwanira Engabo
Mar 07, 2023
“Bwe tubadde tuzimba ebbago eppya kwe tubadde tutambuliza ekikopo kino, abaana abato tubataddeko essira okubaagazisa Ebika byabwe n’okubayamba okuzuula wamu n’okulaakulanya ebitone byabwe.”

NewVision Reporter
@NewVision
AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku kutegeka emipiira gy’Ebika by’Abaganda kayanjudde Engabo ttiimu ezaatuuka ku fayinolo gye zigenda okulwanira ku Lwomukaaga.
Mu mupiira ogusookawo, Ekkobe ligenda kuba littunka n’Effumbe ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu okusalawo ani anaakwata ekifo ekyokusatu, ate ku ssaawa 9 ez’akawungeezi ekibanyi kigwe n’amenvu ng’Olugave luttunka n’Endiga ku fayinolo.
Akakiiko kaakulembeddwaamu minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuzaamu mu Buganda, Henry Ssekabembe Kiberu eyagambye nti, “Bwe tubadde tuzimba ebbago eppya kwe tubadde tutambuliza ekikopo kino, abaana abato tubataddeko essira okubaagazisa Ebika byabwe n’okubayamba okuzuula wamu n’okulaakulanya ebitone byabwe.”
Ssentebe w’akakiiko kano Sulaiman Magala yayongeddeko nti, “Kino tukikoze nga tugenda mu masomero ng’era gye tugenda okutwala tiketi ng’ey’omuyizi egenda kubeera ku 5,000/-, abantu ba bulijjo 10,000/- ate ez’abakungu 20,000/-.
Mu kubaka, Olugave lugenda kuba luttunka n’Enyonyi Nyange okulaba akwata ekifo ekyokusatu mu ssaawa 5 ez’oku makya, ate Engeye ezannye Emmamba Namakaka ku fayinolo.
No Comment