Empaka z’omuzannyo gwa woodball eza Kyambogo Open Woodball Championships ez’omulundi ogw’e 12 zaakomekkereddwa eggulo mu kisaawe kya cricket e Kyambogo n’abawanguzi mu mitendera egy’enjawulo.
Ekire ky’enkube ekyakedde okufudembe tekyalemesezza bazannyi kwettanira mpaka zino ng’abasoba mu 100 be baavuganyizza mu mpaka z’omulundi guno.
Omuzannyi yeetegeka okukuba akapiira.
Omutendera gw’abasajja bakafulu gwawanguddwa Thomas Kedi owa Stroke Woodball Club n’obubonero 90, Akram Matovu owa Makerere University kyakubiri n’obubonero 93 ate Delick Ankunda owa Ndejje University ye yamalidde mu kyokusatu n’obubonero 96.
Omutendera gw’abakazi bakafulu gwawanguddwa Joyce Nabuule owa minisitule w’ensonga z’abakozi ba Gavumenti (Public Service) n’obubonero 97, Joan Mukoova owa Eminates Woodball Club kyakubiri n’obubonero 98 nga Christian Birungi yakutte kyakusatu n’obubonero 99.
Omukozi Wa Vision Group Victoria Bugembe naye yeetabye mu mpaka zino.
Oluvannyuma lw'okuwangula omutendera gwa’bakazi, Nalubega yategeezezza nti ekigenderwa kye omwaka guno kwe kulaba ng’awangula eky’omuzannyi omukyala asinze omwaka guno.
"Nsaba Mukama annyambe mpangule buli mpaka ze ng’enda okwetabamu omwaka guno. Nnina kusigala nga ntendekebwa okulaba nga mbeera ku mutindo gwe nneetaaga," Nalubega bwe yannyonnyodde.