Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Woodball yaakuddamu okutendekebwa ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga yeetegekera empaka z’ensi yonna eza Woodball wo ku bbiici eza Beach Woodball World Cup ez’okubeera mu kibuga Pahanga ekya Malaysia. Omuzannyi Lilian Zawedde Omu Ku bagenda Mu Mpaka Zino.
Abazannyi 12 nga kuliko abasajja mukaaga n’abakazi mukaaga be bali mu kwetegekera empaka z’ensi yonna ezitandika nga July 26 -31.
Abasajja abali ku ttiimu ye; Ronald Mulindwa, Robert Mutiibwa, Micheal Musaazi, Thomas Kedi ne Isreal Muwanguzi. Abakazi ye Joan Mukoova, Christine Birungi, Florence Mukoya , Zawedde Lilian , Jackie Naula ne Joyce Nalubega.
Abazannyi Ba Woodball Nga Beetegereza Obubonero
Lilian Zawedde nga y’omu ku bazannyi abasinga obumanyirivu ku ttiimu ategeezezza nti abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi nga era mu mativu nti balina obusobozi okuwangula empaka zino.
“Abazannyi bonna abali ku ttiimu balungi era nga balina ettoffaali ddene lye bagenda okuteeka ku ttiimu bw’eba yaakuwangula empaka zino eza bbiici,” Zawedde bwe yategeezezza.
Empaka zino zaali zaasemba kutegekebwa wano mu Uganda mu 2019 nga Uganda yamalira mu kifo kyakubiri nga zaawangulwa Chinese Taipei.
Omuzannyi Raymond Ssemata ng'akuba akapiira.