Kaggo alonze olukiiko lwa ttiimu ya Kyaddondo n'alutuma ekikopo ky'amasaza

May 30, 2023

Essaza lya Busiro lye lirina ekikopo kino kye lyawangula oluvannyuma lw’okumegga Buddu ggoolo 2-1 mu kisaawe e Wankulukuku.

NewVision Reporter
@NewVision

Mu kaweefube w’okulabala nga essaza lya Kyaddondo eddamu okuwangula ekikopo ky’amasaza kye baasemba okuwangula mu 2008, omwami w’essaza lino Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu ayanjudde ttiimu kabiriiti gy’atisse eddimu ly’okuwangula ekikopo ky’omwaka guno.

Essaza lya Busiro lye lirina ekikopo kino kye lyawangula oluvannyuma lw’okumegga Buddu ggoolo 2-1 mu kisaawe e Wankulukuku.

Tom Muwonge,ssentebe wa ttiimu.

Tom Muwonge,ssentebe wa ttiimu.

Ttiimu Kaggo gye yayungudde ekulirwa Tom Muwonge (mmeeya wa Kasangati Town Council) ng’amyukibwa, Sitenda Ssebalu eyaliko omupaka wa Palamenti owa Kyaddondo East ssaako abantu abalala okuli; Joseph Mugisha (maneja wa ttiimu), David Kalibbala (muwandiisi), omumbejja Eugenia Nassolo (muwanika), Benard Muwanga (byakikugu), Dr. Oscar Mutebi (muwaso), Rajab Kanaakulya (waamawulire) n’abalala.

Kaggo wamu n'abamyuka be okuli; Oweek Ronald Mpagi ne Dr Fionah Kalinda baategeezezza nti ku mulundi guno Kyaddondo erina okuwagula ekikopo. Muwonge ne Ssebalu baategeezezza nti mu bbanga ttono baakulangirira omutendesi n’ekisaawe mwe banaakyaliza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});