Nga She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) eri mu kwetegekera empaka z’ensi yonna eza Vitality Netball World Cup 2023, omutendesi Fred Mugerwa Tabale alangiridde bakapiteeni ba ttiimu eno abapya. Bano be bagenda okuduumira ttiimu mu mpaka zino e South Afrika.
Irene Eyaru omuteebi wa KCCA, abadde omumyuka owookusatu ku She Cranes kati ye kapiteeni omujjuvu nga waakumyukibwa Margaret Baagala omuwuwuttanyi wa NIC.
Baagala mu kutendekebwa.
Bano okulangirirwa kiddiridde abadde kapiteeni Peace Proscovia (owa Surrey Storm mu Bungereza eyalangirira nti tagenda kubeera na She Cranes mu World Cup eno ate gye buvuddeko eyali omumyuka we, Joan Nampungu naye yayabulira ttiimu bwe yagenda e Bungereza.
Wabula okulonda bakapiteeni bano kireeseewo okwogera obutonotono mu bawagizi nga beebuuza lwaki omutendesi talonze Mary Nuba Cholhok azannyira mu Loughborough Lightning eya Bungereza. Wano abamu we basinzidde okwongera okubityebeka nti omuzannyi ono naye yandyabulira ttiimu eno n’atazannya World Cup nga bwe bibadde biyiting’ana.
Abazannyi ba She Cranes mu kutendekebwa.
“Nnina obwesige bungi mu bazannyi bano naddala mu nsonga y’obukulembeze, kuba tebasooka busoosi, bazze bakikola mu ttiimu zaabwe ne mu mpaka ez’enjawulo,” Mugerwa bwe yategeezezza.
Eyaru ye kapiteeni wa KCCA ey’okubaka mu liigi y’eggwanga era yaliko kapiteeni wa She Cranes omujjuvu Uganda bwe yali ewangula ekikopo ky’empaka za yunivasite ez’enjawulo (World University Netball Championship) mu 2018. Empaka zino zaayindira e Makerere.
“Obuvunaanyizibwa obunkwasiddwa si bwangu naye teri bukulembeze butava eri Katonda, ng’enda kukulembeza empisa, okuzzaamu bazannyi bannange amaanyi n’okulaba nga tukola bulungi mu mpaka ze tugendamu,” Eyaru bwe yategeezezza.
Mu ngeri y’emu, Baagala ye mumyuka wa kapiteeni ku ttiimu ya NIC nayo eya liigi y’eggwanga. Guno gugenda kubeera mulundi gwakuna nga Uganda yeetaba mu kikopo ky’ensi yonna (1979, 2015 ne 2019). Omulundi gusembyeyo yamalira mu kifo kyamusanvu era gw’ekyasinze okukola obulungi.