Vipers ne Police ziri bulindaala ku fayinolo ya Stanbic Uganda Cup
Jun 02, 2023
Omwaka oguwedde, baalina omukisa okutuuka ku buwanguzi buno kyokka ne bakoma ku munaabo kuba BUL yabakuba (3-1) ku fayinolo y’empaka ze zimu wadde nga baali bamaze okuwangula liigi nga bwe guli omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision
Lwamukaaga e Lira, 9:00
Police FC - Vipers
EKIBANYI kyakugwa n’amenvu e Lira ku kisaawe kya Akii Bua Stadium nga Police ezannyira mu Big League ettunka ne bannantameggwa ba liigi aba Vipers mupiira oguliko obugombe.
Gwa fayinolo ya Stanbic Uganda Cup nga Vipers eyingira ensiike eno ng’eyagala kweggyako kikwa kyakumala myaka 16 ng’erwana okufuna bwassaalongo nga ttiimu endala okuli; SC Villa, Express ne KCCA.
Omwaka oguwedde, baalina omukisa okutuuka ku buwanguzi buno kyokka ne bakoma ku munaabo kuba BUL yabakuba (3-1) ku fayinolo y’empaka ze zimu wadde nga baali bamaze okuwangula liigi nga bwe guli omwaka guno.
Richard Wasswa, omumyuka wa Alex Isabirye ku butendesi bwa Vipers, ku Lwokubiri yategeezezza nga bwe balina ennyonta ey’okusitukira mu kikopo ekyokubiri era omupiira guno bagenda kuguzannya n’obumanyirivu olw’ensonga nti Police nayo tetudde kuba yeetegese bulungi.
Mu kikopo kino, ttiimu zombi zaasemba kusisinkana mu 2021, Vipers n’ewangula (2-0) e Njeru ku semi wabula Angelo Lonyesi, atendeka Police agamba nti nabo bakimye kikopo okwenazaako ennaku.
No Comment