BUL akatale k'abazannyi ekakutte na maanyi - ereese ggoolokipa Mutakubwa

Jul 04, 2023

Mutakubwa yayamba Express okusitukira mu kikopo kya liigi ne CECAFA Kagame Cup mu sizoni ya 2021-22 wansi w’omutendesi Wasswa Bbosa. Abbey Kikomeko, omutendesi wa BUL FC omuggya yagambye nti ggoolokipa ono bamwesize olw’obumanyirivu bw’alina mu liigi. Abadde ggoolokipa wa BUL, Emma Kalyowa teyazzizza ndagaano ye buggya. 

NewVision Reporter
@NewVision

AKATALE k’okukyusa abazannyi mu liigi za Uganda kongedde okukwata akati nga bwe guli mu Bulaaya. Abadde ggoolokipa wa Gaddafi FC, Joel Mutakubwa agenze okulaba nga ttiimu eyo emusembya n’asalawo agyabulire.

Yeegasse ku BUL FC oluvannyuma lwe endagaano ye okugwaako era kigambibwa bakama be baabadde balinze kumuyita bamwongere endagaano kyokka baagenze okuwulira nti akutudde ddiiru ne ttiimu endala. 

Ono yatadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri mu kaweefube BUL gw’eriko okuwangula ebikopo sizoni ejja. 

Mutakubwa yayamba Express okusitukira mu kikopo kya liigi ne CECAFA Kagame Cup mu sizoni ya 2021-22 wansi w’omutendesi Wasswa Bbosa. Abbey Kikomeko, omutendesi wa BUL FC omuggya yagambye nti ggoolokipa ono bamwesize olw’obumanyirivu bw’alina mu liigi. Abadde ggoolokipa wa BUL, Emma Kalyowa teyazzizza ndagaano ye buggya. 

Mutakubwa akwatidde ttiimu okuli; Busoga United (Kirinya Jinja SS), Kyetume, Tooro United ne Express zonna ezizannyira mu liigi ya babinywera. Mu ngeri y’emu Joel Madondo abadde mu Gaddafi naye yeegasse ku BUL FC ne yeegatta ku Gerald Ogweti n’omutendesi Abbey Kikomeko. 

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});