South Afrika y'erina essuubi lya Afrika mu World Cup y'okubaka

South Afrika be bategesi ekibawa enkizo ate beetabye mu mpaka za ‘Quad Series’ bwe battunse ne ttiimu essatu ezisinga mu nsi yonna okuli; Australia, New Zealand ne Bungereza. Wadde tebaafunyeeyo wiini, baggye amaliri ku Bungereza (46-46). Kapiteeni waabwe Bongiwe Msomi 34, azannya Center ne WD alina obumanyirivu kuba yawangudde liigi ya Bungereza ne Surrey Storm, Wasps kati ali mu Golden Fireballs eya South Afrika.

Abamu ku bazannyi ba ttiimu ya South Afrika ey'okubaka
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Netball World Cup #South Afrika #Cecilia Malokwane #Spar Proteas #Apartheid

SOUTH Afrika ly’eggwanga mu Afrika eryasooka okutegeka World Cup y’omupiira mu 2010, Cricket World Cup (2003), Rugby World Cup (1995) ate era lye lisoose n’okutegeka World Cup y’okubaka 2023. Esigadde ennaku 11 World Cup y’okubaka etandike mu kisaawe kya International Convention Center mu kibuga Cape Town ekya South Afrika. Bukedde akuleetedde ebikwata ku ttiimu ya South Afrika ey’okubaka.

Bamanyiddwa nga Spar Proteas abatendekebwa Norma Plummer enzaalwa za Australia. Yasooka kubatendeka mu 2015 n’asuulawo omulimu mu 2019 wabula omwaka oguwedde, baamukomezzaawo. Cecilia Malokwane y’akulira okubaka mu South Afrika, nga bakwata kyakutaano mu nsengeka z’okubaka mu nsi yonna. Ensiike 65 ze baakeetabamu ku ddaala ly’ensi yonna, bakung’aanyizza obubonero 6,770 nga bazitowa obuboneo 157.

South Afrika yamezze New Zealand

Amawanga gombi ge gaali gaasaba okutegeka World Cup eno naye ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu nsi yonna (INF) ne kiwa South Afrika omukisa.

Bwe bazze bakola mu World Cup

Guno mulundi gwa 10 nga Spar Proteas ekiika mu World Cup. Bali mu kibinja C ne; Jamaica, Wales ne Sri Lanka nga bonna banoonya kikopo kya World Cup kisooka okuva 1963 lwe kyatandikawo. South Afrika eggulawo ne Wales nga July 28. Omulundi ogwasookera ddala okwetaba mu World Cup mu 1963 eyali e Bungereza, baamalira mu kyamukaaga nga bwe gwali mu 2007 mu New Zealand era zino ze sizoni ze bakyasinze okukola obubi.

World Cup ya 1995 mu Birmingham ekya Bungereza gye bakyasinze okukola obulungi bwe baakubwa Australia 68-48 ku fayinolo. Mu ya 1967 mu Australia, baakwata kyakusatu, 1999, 2003, 2011 ne 2015 baakwata kyakutaano ate mu 2019 e Liverpool, baamalidde mu kyakuna.

Khanyisa Chawane y'omu ku bazannyi South Afrika kw'esibidde.

Khanyisa Chawane y'omu ku bazannyi South Afrika kw'esibidde.

South Afrika egobwa mu World Cup

Nga baakamala okussaawo omutindo mu World Cup ya 1967, INF yabagoba mu mpaka zino lwa busosoze mu langi (Apartheid). Olutalo luno olwakulungula emyaka egisukka mu 25, lwasubya South Afrika World Cup 6 (1971, 1975, 1979, 1983, 1987 ne 1991). Baakomawo n’obusungu mu ya 1995 ne bamalirira mu kyokubiri kyokka kyabatwalidde emyaka 28 okuddamu okutuuka ku fayinolo.

Amaanyi ga Spar Proteas

Be bategesi ekibawa enkizo ate beetabye mu mpaka za ‘Quad Series’ bwe battunse ne ttiimu essatu ezisinga mu nsi yonna okuli; Australia, New Zealand ne Bungereza. Wadde tebaafunyeeyo wiini, baggye amaliri ku Bungereza (46-46). Kapiteeni waabwe Bongiwe Msomi 34, azannya Center ne WD alina obumanyirivu kuba yawangudde liigi ya Bungereza ne Surrey Storm, Wasps kati ali mu Golden Fireballs eya South Afrika.

Obunafu bwa South Afrika

Okuva mu mizannyo gya commonwealth, ttiimu ebadde terina mutendesi okutuusa mu November wa 2022, Norma Plummer bwe yakomyewo. Wadde yali abatendeseeko, yandisanga obuzibu kuba ku bazannyi 15 be yatutte, kuliko ababadde n’obuvune. Elmere van der Berg, Lefebre Rademan ne Nicola Smith abaakava ku buvune, omumyuka wa kapiteeni Karla Pretorius yaakazaala.

Abazannyi kwe yeesigamye

Chawane Khanyisa azannya ebifo bisatu ku kisaawe okuli; Center/WA/WD, ali ku ffoomu ye yabadde omuzannyi wa sizoni ewedde mu liigi y’e South Afrika ekyawalirizza ne Team Bath eya Bungereza okumukansa.

Eno ye World Cup gy’asooka okuzannya era asuubirwa okussaawo omutindo. Omuteebi Lenize Potgieter owa Manchester Thunders ye yakutte ekyokubiri mu kuteeba ne ggoolo 757 mu liigi ya Bungereza emabega wa Mary Nuba Cholhok owa Loughborough Lightning eyakulembedde ne ggoolo 908. Eno ye World Cup ya Potgieter eyookusatu.