Vipers ewandukidde mu maanyi mu za CAF

Aug 28, 2023

Jwaneng Galaxy eya Swaziland ye yannyogozza abawagizi ba Vipers e Kitende ku Lwomukaaga, bwe yabateebye ng’omupiira gusemberera okuggwa. Vipers yawangudde (2-1) kyokka ng’okuyitamu yabadde yeetaaga ggoolo 3-0 olw’okuba mu gwasooka e Gaborone yakubwa (2-0).

NewVision Reporter
@NewVision

CAF Champions League;

Vipers 2-1 Jwaneng Galaxy

BAKYAMPIYONI ba liigi ya Uganda, aba Vipers baawandukidde mu maanyi mu mpaka za CAF Champions League bwe baateebye ggoolo bbiri ez’amangu kyokka nga balwana okufuna eyookusatu bayitemu, baasumagidde n’enywa ewaabwe ne bavaako.

Jwaneng Galaxy eya Swaziland ye yannyogozza abawagizi ba Vipers e Kitende ku Lwomukaaga, bwe yabateebye ng’omupiira gusemberera okuggwa. Vipers yawangudde (2-1) kyokka ng’okuyitamu yabadde yeetaaga ggoolo 3-0 olw’okuba mu gwasooka e Gaborone yakubwa (2-0).

Yunus Sentamu ye yateebye ggoolo zombi mu kitundu ekisooka ne gukyuka nga balina essuubi ly’okunywesa eyookusatu bayitewo. Mu kyokubiri, omutendesi wa Vipers, Omubrazil, Neiva yakoze enkyukakyuka okwongera okunyigiriza abagenyi era Karim Watambara, eyabadde yaakayingira yakubye omupiira ogwaboyaanyizza ggoolokipa wa Galaxy wabula n’agumansula.

Isa Mubiru (ku ddyo) ng'attunka ne Omaalta Kebatho owa Galaxy.

Isa Mubiru (ku ddyo) ng'attunka ne Omaalta Kebatho owa Galaxy.

Vipers yayongedde okunyigiriza, omuwuwuttannyi waayo, Bright Anukani n’afuna omukisa oguteeba naye omupiira n’agukuba mu bire. Yayongedde okukola ennumba kyokka ng’epakuukirira, emipiira abateebi nga bagikuba kibaliga.

Ng’ebula eddakiika emu aba Vipers nga batandise okwesunga okugenda mu ‘bunnya’, omuzibizi Isa Mubiru yakoze ekisobyo okumpi n’entabwe ekyabaviirideko amaziga. Gilberto Baluti ye yasimudde ekisobyo kino, omupiira ne gutoola akatimba, ekisaawe kyonna ne kibeera nga awali omukolo gw’okuziika.

Vipers yasooka kuwanduka mu ‘FUFA Super 8’ bwe yakubwa BUL (1-0) ku ‘quarter’. Sizoni ewedde, Vipers yeesogga ebibinja bya Champions League kyokka ye yakoobera

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});