Tukyalinawo omukisa oguyitamu - Omuteebi wa Crested Cranes
Sep 21, 2023
Crested Cranes ne Algeria baakudding’ana ku Lwokubiri mu kibuga Algiers omupiira ogunaasalawo ttiimu eyitawo. Najjemba eyateebye ggoolo ya Uganda eya peneti yagambye nti yaakubayamba okuzimbirako obuwanguzi singa ttiimu eneekolera awamu ssaako okwongeramu amaanyi.

NewVision Reporter
@NewVision
FAUZIA Najjemba yeetondedde abawagizi abaayiise e Njeru okuwagira ttiimu y’eggwanga ey’abakazi nga battunka ne Algeria n’abasuubiza nti bagenda kulinnyisa omutindo.
Crested Cranes yakubiddwa Algeria (2-1) ku Lwokusatu kyokka Najjemba agamba nti bakyasobola okuwandula Algeria nga badding’anye. Battunka mu z’okusunsuulamu abalizannya AFCON w’abakazi anaabeera e Morocco omwaka ogujja.
Crested Cranes ne Algeria baakudding’ana ku Lwokubiri mu kibuga Algiers omupiira ogunaasalawo ttiimu eyitawo. Najjemba eyateebye ggoolo ya Uganda eya peneti yagambye nti yaakubayamba okuzimbirako obuwanguzi singa ttiimu eneekolera awamu ssaako okwongeramu amaanyi.
“Ntwala omukisa guno okwebaza abawagizi baffe abazze mu bungi wabula wadde twasubiddwa emikisa egiwera, ensobi tugenda kuzitereeza mu kaseera akatono ke tulina,” Najjemba bwe yategeezezza.
Mu ngeri y’emu, Ayub Khalifa yagambye nti ttiimu ye yabadde n’ekiwuggwe mu ddakiika ezisooka wabula agenda kukola ku nsonga eno abazannyi bagende okuddamu okusisinkana Algeria nga bekkiririzaamu.
No Comment