Maroons esuuzizza Villa obubonero Omuzungu n'agumya abawagizi
Sep 25, 2023
Stojanovic agamba nti abazannyi be bawaddeyo kyonna okulaba nga bafuna obubonero obusatu wabula ne bugaana kuba baalumbye Maroons okuva omupiira lwe gwatandise okutuusa bwe gwawedde.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTENDESI wa SC Villa, Dusan Stojanovic atenderezza omutindo abazannyi be gwe baayolesezza nga balemagana ne Maroons (1-1) e Luzira mu liigi y’eggwanga eya StarTimes Uganda Premier League.
SC Villa yazze mu nsiike eno ng’eyagala buwanguzi oluvannyuma lw’okuyiwayo abawagizi baayo e Wankulukuku wiiki ewedde bwe baakubwa Kitara (2-1) mu mupiira ogwaggulawo liigi ne baswalira mu maaso g’abawagizi.
Stojanovic agamba nti abazannyi be bawaddeyo kyonna okulaba nga bafuna obubonero obusatu wabula ne bugaana kuba baalumbye Maroons okuva omupiira lwe gwatandise okutuusa bwe gwawedde.
Stojanovic
“Abazannyi bange baasubiddwa emikisa egiwera wabula obuzibu obwo bwonna tugenda kubukolako okulaba nga mupiira oguddako tufuna obuwanguzi,” Stojanovic bwe yategeezezza.
Fred Amaku owa Maroons ye yasoose okulengera akatimba mu ddakiika y’e 60 wabula Alfred Odong n’ateeba ey’ekyenkanyi mu y’e 65 nga waakayita eddakiika ttaano. SC Villa yazze mu kifo kyamwenda n’akabonero kamu mu mipiira ebiri sso nga Maroons yazze mu kyakutaano n’obubonero 5. Villa ezzaako NEC FC e Wankulukuku.
No Comment