Fayinolo y'Amasaza: Gomba ne Bulemeezi balinze ffirimbi

Oct 28, 2023

EKISAAWE ky’e Wankuluku kibemberedde abawagizi nga bonna balindiridde ffirimbi envannyuma egenda okusalawo ani kyampiyoni wa sizoni y’empaka z’Amasaza eye 19 ekomekkerezebwa leero.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero mu Masaza ga Buganda

Ekifo ekyokusatu (Wankulukuku)

Buddu – Mawokota

Fayinolo (Wankulukuku)

Gomba – Bulemeezi (9:00)

EKISAAWE ky’e Wankuluku kibemberedde abawagizi nga bonna balindiridde ffirimbi envannyuma egenda okusalawo ani kyampiyoni wa sizoni y’empaka z’Amasaza eye 19 ekomekkerezebwa leero.

Wasoosewo omupiira wakati wa Buddu ne Mawokotoka nga balwanira ekifo ekyokusatu. Buddu yawandulwamu Gomba ku semi ate Mawokota n’efululwa Bulemeezi.

Ku ssaawa 9 ez’olw’eggulo, enkalu zaakunoonya obukongovvule nga Gomba abakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi (2004, 2009, 2014, 2017 ne 2020 bubeefuka ku fayinolo ne Bulemeezi abakirina emirundi ebiri gyokka (2012 ne 2019).

Guno gwe mulundi ogusooka ttiimu zombi okwesanga ku fayinolo mu sizoni 19 ez’Amasaza ga Buganda wabula baasisinkanako ku semi za 2017 Gomba n’ewandulamu Bulemeezi ku mugatte gwa ggoolo 1-0 oluvannyuma lw’amaliri (0-0) e Kasana Luweero ate e Kabulassoke Gomba yawangula (1-0).

OMUTENDESI WA GOMBA BAMUKALIZE

Gomba ejja mu mupiira guno ng’erina eddibu eddene ery’omutendesi Felix Ssekabuuza Kawooya eyawezezza kaadi eza kyenvu 2 ng’etteeka terimukkiriza kutuula ku katebe ka ttiimu eno wadde okumulaba ng’awa abazannyi ebiragiro.

Ssekabuuza ku mupiira gwa ‘quarter’ nga Ssingo ettunka ne Gomba yaweebwa kkaadi eya kyenvu lwa kuwakanya ebimu ku biragiro bya ddiifiri ate ne ku semi nga Gomba ewandulamu Buddu, era Ssekabuuza yakola ekintu kye kimu n’aweebwa kkaadi eya kyenvu.

Ssekabuuza anoonya ekikopo ekisooka nga yeetengeredde ng’omutendesi wabula yaakakiwangulako emirundi etaano ng’omumyuka ku Masaza ag’enjawulo.

Ate batabani ba Kkangaawo aba Bulemeezi batendekebwa Ibrahim Kirya anoonya ekikopo ekyokubiri mu byafaayo, ekyasooka yakiwangulira Gomba mu 2020 ate sizoni ewedde yabadde ku Buddu ne bakubwa Busiro ku fayinolo, kati alina ennyonta.

Mu ngeri y’emu ne ggoolokippa ate kapiteeni wa ttiimu eno Tonny Atugonza abadde empagiruwaga bukya sizoni eno etandika nga y’ataasa ennyanda empitirivu tagenda kuzannya mupiira guno lwa kkaadi eza kyenvu bbiri.

OPIO WA BULEMEEZI NAYE AKALIGIDDWA

David Opio abadde yaakasinga okuteebera Bulemeezi ggoolo ennyingi sizoni eno, tagenda kuzannya mupiira guno lwa kkaadi bbiri eza kyenvu.

Ono yaweebwa kkaadi ku ‘quarter’ nga battunka ne Buweekula mu gw’okudding’ana ate ne jjuuzi ku semi nga bakyazizza Mawokota e Kasana era yalagibwa kkaadi eya kyenvu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});