Ayagala ManU ekanse musaayimuto wa Portugal

Nov 20, 2023

Omuzannyi ono ow’emyaka 19 yaakazannyira ttiimu eyo emipiira 11 ne ggoolo emu kyokka abaamulabyeko bagamba nti ekitone kye kikwafu nnyo.

NewVision Reporter
@NewVision

KAPITEENI wa ManU, Bruno Fernandes asabye omutendesi we Erik ten Hag akanse omuwuwuttanyi wa Benfica, Joao Neves.

Omuzannyi ono ow’emyaka 19 yaakazannyira ttiimu eyo emipiira 11 ne ggoolo emu kyokka abaamulabyeko bagamba nti ekitone kye kikwafu nnyo. Waliwo abaamugeraageranyizza ku Enzo Fernandez owa Chelsea.

Olw’omutindo omulungi gw’ayolesezza, omutendesi wa ttiimu y’eggwanga lya Portugal, Roberto Martinez yamuyise ku ttiimu y’eggwanga omwezi oguwedde ne guno.

Yayingiddemu mu ddakiika y’e 87 nga bawangula Iceland (2-0) mu z’okusunsulamu abalizannya Euro omwaka ogujja ku Ssande.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});