Man U etimpudde Brentford n'abawagizi abaabadde bategese okwegugunga ne babivaako
May 03, 2022
Kiraabu ya Manchester United etaddewo omutindo ogwawukanye ku gweyolesa bulijjo ng'ezannya omupiira ogusembye awaka ku kisaawe kyayo ekya Old Trafford mu sizoni eno eya 2021/22 bw'ekutte Brentford (bakanywamusaayi) n'egiwangula ku ggoolo 3 -0 n'abawagizi abaabadde beetegese okwekalakaasa ne babivaako.

NewVision Reporter
@NewVision
Ggoolo eyasoose yateebeddwa omuwuwttanyi Bruno Fernandes mu ddakiika ey'omwenda ng'eva mu mupiira ogwamusaliddwa omusaayimuto Anthony Elanga. Eyookubiri yabadde ya peneti eyakubiddwa Cristiano Ronaldo mu ddakiika eya 61 oluvannyuma lwa difiri okusala ekisobyo ekyakoleddwa ku Ronaldo yennyini mu ntabwe ya Brentford olwo omupiira ne gufuuka 2-0.
Goolo eyamaze eggobe mu kibye yabadde nnatalabikalabika ng'ezziga lya kkapa, anti yateebeddwa omuzibizi Raphael Varane mu ddakiika eya 72 era nga ye ggoolo ye eyasoose mu mujoozi gwa Man U okuva lwe yagyegattako ng'ava mu kiraabu ya Real Madrid ey'e Spain gye yali asambidde okumala emyaka 10.Kati Man U ya kutwala akaseera ak'emyezi egisukka mu 3 nga tezzeemu kuzannyira waka, anti emipiira ebiri egisigadddeyo omuli ogwa Brighton ne Crystal Palace ya kugizannyira ku bugenyi ng'ekyali mu kifo kyamukaaga n'obubonero 58 era efuuyirira kanwe okuwangula emipiira gyombi nga bwesaba Arsenal oba Spurs okusuula egyabwe olwo Man U esobole okuzannyako waakiri mu Europa sizoni ejja.
Okwekalakaasa kw'abawagizi okwagudde obutaka
Abawagizi ba Man U bangi si bamativu n'engeri abagagga abaagula Kiraabu eno gye bagiddukanyaamu era balabiddwako emirundi mingi nga bawanise ebipande nga bagamba nti abagagga abano bave mu kiraabu eno olwokuba nti bagikolamu bukozi ssente.
Bino we bijjidde nga mu mwaka guno abagagga bano aba Glazer family lwe bawezezza emyaka 17 okuva lwe baagula Man U mu 2005 era abawagizi baabadde basazeewo okugera ekiseera ng'omupiira gwa jjo gusigazzaayo eddakiika 17 (mu ddakiika eya 73) beecwacwane bafulume ekisaawe nga beekalakaasa naddala ssinga Man U yabadde evuyizza ne mu mupiira guno, kyokka baabivuddeko newankubadde tekiggyawo bukyayi bwe balina ku bagagga bano Abamerika.
Abazannyi abamu basiibudde abawagizi
Abamu ku bazannyi abaalangirira edda nti ba kuva mu Man U ku nkomerero ya sizoni eno baaweereddwa omukisa okuzannya omupiira gwa Brentford era ne basiibula abawagizi wakati mu kubakubira emizira. Mu bano mwabaddemu Juan Mata (34) eyayolesezza omutindo omulungi mu mupiira gwonna nga gwe yasoose okutandika okuva sizoni eno lwe yatandika. Omulala ye Nemanja Matic, ne Edinson Cavani eyayingiddemu mu ddakiika eya 75 kw'ossa Jesse Lingard eyabadde ku katebe.
Related Articles
No Comment