Marseille etokota muwuwuttanyi wa Arsenal
Nov 22, 2023
Marseille emwaga ku bbanja kyokka tekinnamanyika oba nga Arsenal enekkiriza okumuta. Okuva Omuportugal ono lwe yeegatta ku Arsenal sizoni ewedde ng’ava mu FC Porto, akyalemeddwa okuwamba ennamba mu ttiimu etandika, Marseille ky’evudde yeesowolayo okumutwala ku bbanja.

NewVision Reporter
@NewVision
Mu kaweefube kw’okulwana bezze obuggya sizoni eno, Marseille eya Bufalansa etegese okulumba Arsenal mu katale ka January bagiguze omuwuwuttanyi Fabio Vieira.
Marseille emwaga ku bbanja kyokka tekinnamanyika oba nga Arsenal enekkiriza okumuta. Okuva Omuportugal ono lwe yeegatta ku Arsenal sizoni ewedde ng’ava mu FC Porto, akyalemeddwa okuwamba ennamba mu ttiimu etandika, Marseille ky’evudde yeesowolayo okumutwala ku bbanja.
Marseille eri mu kya 10 mu kaseera kano era omutindo oguno ogw’ebitege, guwalirizza abagikulira okwagala okwongeramu abazannyi.
Wabula, ddiiru zonna okuyitamu, balina kusooka kuleeta akulira omupiira. Batunuulidde eyali omuzibizi wa Bayern ne Juventus, Mehdi Benatia.
No Comment