Obuvune bwongedde okunyiga Arsenal
Nov 29, 2023
Omuzannyi ono yasubiddwa omupiira ogusembyeyo mu Premier nga Arsenal ewangula Brentford (1-0) kyokka ku Mmande yalongooseddwa embalakaso.

NewVision Reporter
@NewVision
Nga sizoni ya Premier etuuse mu kaseera w’enyumira, abawagizi ba Arsenal beeyongedde okunakuwala omutendesi waabwe Mikel Arteta bw’abagambye nti omuwuwuttanyi Fabio Vieira yalwadde.
Omuzannyi ono yasubiddwa omupiira ogusembyeyo mu Premier nga Arsenal ewangula Brentford (1-0) kyokka ku Mmande yalongooseddwa embalakaso.
Kyategeezeddwa nti omuzannyi ono waakumala ku ndiri waakiri wiiki mukaaga, ekyongedde okunafuya amakkati ga Arsenal. Abazannyi abalala abalwadde kuliko Thomas Partey, Emile Smith Rowe n’abalala.
Leero, Arsenal ekulembedde ekibinja B, ekyaza Lens eya Bufalansa mu Champions League nga yeetaaga akabonero kamu okwesogga oluzannya lwa ttiimu 16.
Mu ngeri y’emu, Arsenal y’ekulembedde Premier ku bubonero 30 mu mipiira 13 era ku wiikendi yaakukyaza Wolves ku Emirates.
No Comment