Antonio wa West Ham alabudde ssita wa Premier

Feb 12, 2024

Antonio agamba nti Maupay ye muzannyi asinga okukyayibwa mu Premier era singa enkola ze ez’okusojjanga abazannyi ba ttiimu endala zinaagenda mu maaso, wandyekanga ng’abamu bavudde mu mbeera ne bamukuba.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTEEBI wa West Ham, Michail Antonio alabudde omuwuwuttanyi wa Brentford, Neal Maupay okukomya okusojjagananga ne bazannyi banne kuba kijja kumuzaalira akabasa.

Antonio agamba nti Omufalansa Maupay asusse okusojjanga abazannyi ba ttiimu ze bazannya nazo oluusi ekibaviiramu okunyiiga.

Maupay

Maupay

Antonio agamba nti Maupay ye muzannyi asinga okukyayibwa mu Premier era singa enkola ze ez’okusojjanga abazannyi ba ttiimu endala zinaagenda mu maaso, wandyekanga ng’abamu bavudde mu mbeera ne bamukuba. Maupay yasembye kucookooza James Maddison ng’ayeeyeereza mu ngeri gy’asanyukiramu ggoolo.

Gye buvuddeko, yagugulana ne Kyle Walker owa Man City bwe yamucookooza nga battunka mu Premier.

Omuzannyi y’omu yaviirako omuwuwuttanyi wa Arsenal, Matteo Guendouzi okwabulira kiraabu eyo bwe yamucookooza ng’akyali mu Brighton, olwo ne Guendouzi n’amuddiza. Kino kyavirako Arteta okukangavvula omuzannyi we n’ekyaddirira kumugoba.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});