Arsenal ezzeemu okwegwanyiza owa Newcastle
Nov 14, 2024
Sizoni ewedde, ttiimu y’emu yayogereza Isak kyokka n’eremwa okumugula. Kyategeezeddwa nti eby’okuteesa ku ndagaano empya, omuzannyi ono tabinyegako era waliwo ababibungeesa nti yandigenda.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTEEBI wa Newcastle, Alexander Isak agambye nti eby’amawulire okutegeeza nga bw’agenda mu Arsenal tebigenda kumuggya ku mulamwa.
Isak, enzaalwa ya Sweden yaakateebera ttiimu ye ggoolo 25 mu mipiira 40 gye yaakabazannyira okuva lwe yabeegattako mu 2022. Mu kiseera kino Arsenal eri ku muyiggo gwa muteebi agyongeramu amaanyi esobole okuvuganya ku kikopo era etunuulidde Isak.
Sizoni ewedde, ttiimu y’emu yayogereza Isak kyokka n’eremwa okumugula. Kyategeezeddwa nti eby’okuteesa ku ndagaano empya, omuzannyi ono tabinyegako era waliwo ababibungeesa nti yandigenda.
Wabula bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire, Isak yagambye nti obwongo bwe mu kiseera kino butunuulidde kuzannyira Newcastle. Ttiimu zombi bwe zaasisinkanye mu Premier gye buvuddeko, Isak ye yateebye ggoolo eyawadde Newcastle obuwanguzi. Arsenal eri mu kyakuna ku bubonero 19 ate Newcastle yaamunaana ku 18.
No Comment