Bassita ba Arsenal bamatira musaayimuto

Feb 12, 2024

Nga Arsenal etimpula West Ham ggoolo 6-0, batabani ba Arsenal omulimu baagumalirizza ng’obudde bukyali era ggoolo eyoomukaaga baagiteebye mu ddakiika ya 65.

NewVision Reporter
@NewVision

Omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta agambye nti abazannyi ba ttiimu ye baamuwalirizza okuyingizaamu musaayimuto Ethan Nwaneri.

Nga Arsenal etimpula West Ham ggoolo 6-0, batabani ba Arsenal omulimu baagumalirizza ng’obudde bukyali era ggoolo eyoomukaaga baagiteebye mu ddakiika ya 65. Kino kyaviiriddeko Arteta okukola enkyukakyuka mu ttiimu n’aggyayo bulijjo abatandika n’ayingizaamu abasooka ku katebe.

Abazannyi abaabadde baalabye ggoolo ziweze, kwe kutandika okwekuba obwama n’abamu nga bwe babuweereza abamyuka ba Arteta nga bamusaba ayingizeemu Nwaneri olw’obwesige bwe bamulinamu.

Nwaneri y’omu ku bazannyi abali ku mutindo ate nga n’ekitone kyabwe kyeyogerera era Arteta agamba nti olwawulidde bazannyi banne nga baagala ayingire, teyalonzalonzezza n’amuleeta mu kya Gabriel Martinelli.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});