Bengo ne Mawejje balidde obutendesi bwa Wakiso Giants
Jul 17, 2024
Bengo, eyaliko mu SC Villa ye mutendesi omukulu ng’amyukibwa Mawejje. Wabula bano we bakwatidde enkasi nga ttiimu eviiriddwaako abazannyi bangi empagiruwaga era kati bali ku muyiggo gwa kuziba bituli ebyo.

NewVision Reporter
@NewVision
TTIIMU ya Wakiso Giants mu liigi Star Times Uganda Premiar League, bakansizza Steven Bengo ne Tony Mawejje nga abatendesi baabwe sizoni ejja 2024/2025.
Kyaddiridde abadde omutendesi waabwe John ‘Ayala’ Luyinda okusuulawo ttawulo gye buvuddeko. Baaweereddwa endagaano ya myaka esatu buli omu.
Bengo, eyaliko mu SC Villa ye mutendesi omukulu ng’amyukibwa Mawejje. Wabula bano we bakwatidde enkasi nga ttiimu eviiriddwaako abazannyi bangi empagiruwaga era kati bali ku muyiggo gwa kuziba bituli ebyo.
Titus Ssematimba ne Marvin Nyanzi (baagenze mu Kitara FC) ate Kenneth Kimera yeegasse ku Vipers SC wamu n’abalala.
Guno mulundi gwakubiri nga Bengo okutendekako Wakiso Giants oluvannyuma lwa 2019 bwe yaleetebwa ng’ow’ekiseera oluvannyuma lwa Kefa Kisala okugisuulawo mu kiseera ekyo.
“Twanirizza Bengo ne Mawejje mu ffamire ya ttiimu ‘Purple Sharks’ era tubasuubiramu bingi,” ebbaluwa bw’esoma okuva mu Wakiso Giants.
No Comment