Ebyemizannyo

Omutendesi wa Kyaddondo asuddewo ttiimu lwa butamusasula

OMUTENDESI Meddie Nyanzi asuddewo ttiimu y'Essaza lya Kyaddondo ng'agamba nti tebamusasula.

Omutendesi wa Kyaddondo asuddewo ttiimu lwa butamusasula
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUTENDESI Meddie Nyanzi asuddewo ttiimu y'Essaza lya Kyaddondo ng'agamba nti tebamusasula.

Oluvannyuma lwa Bugerere okubakuba (3-2) e Mukono ku Ssande, Nyanzi 'yakitadde' ng'agamba nti abazannyi bonna babanja nga kye kibamazeemu amaanyi ne bateewaayo kimala ku kisaawe. 

Omupiira gwa Ssande gwayimiriddemu eddakiika 10 ng'abawagizi ba Kyaddondo beekalakaasa olwa 'bassita baabwe' okuba ku katebe. 

Kyaddondo erina obubonero 6 mu mipiira 7. Buweekula erina 16.

Tags:
Kyaddondo
Mutendesi
Ttiimu
Mupiira