Ebyemizannyo

Nnantameggwa w'omuzannyo gwa Chess mu Africa akomyewo mu bitiibwa

Nnantameggwa womuzannyo gwa Chess mu Africa Sana Omprakash, yayaniriziddwa mu bitiibwa akawungeezi k'eggulo bweyabadde akomawo okuva mu mpaka za African Youth Chess Championships ezaakomekkrezeddwa e Zimbabwe.

Sana nga ali ne bakadde be okuva ku kkono wamu nabakulembeze ba chess
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Nnantameggwa w'omuzannyo gwa Chess mu Africa Sana Omprakash, yayaniriziddwa mu bitiibwa akawungeezi k'eggulo bweyabadde akomawo okuva mu mpaka za African Youth Chess Championships ezaakomekkrezeddwa e Zimbabwe.
Sana eyawangudde ezabali wansi wemyaka 18 yatonnye ku kisaawe Entebbe ku ssawa emu nekitundu ezolweggulo nga wamu ne mutoowe soubith Omprakash naye eyawangulidde Uganda omudaali ogwekikomo mu mutendera gwabali wansi wemyaka 16. Bano baabadde bawerekeddwako mama waabwe Seretha Omprakash eyatambula nabo ku lugendo lwe Zimbabwe.  

Victoria Nakiirya wakati nga ali nabawanguzi Soubith Omprakash ku kkono ne Sana ku ddyo

Victoria Nakiirya wakati nga ali nabawanguzi Soubith Omprakash ku kkono ne Sana ku ddyo


Bano baayaniriziddwa wakati mu mizira okuva mu bazanyi nabakulembeze bomuzannyo gwa chess nga bakulembveddwa omuwandiisi wensonga zabakyala mu kibiina ekitwala omuzannyo gwa chess mu ggwanga Victoria Nakiirya.
Abazinyi bamazina agekinnansi nabayimbi beebaabakulembedde okubafulumye ekizimbe awatuukirwa.
Nga yenna abugaanye essanyu Sana, yeebazizza abantu abaamwanirizza mu mizira kyeyagambye nti yabadde takisuubira. Wabula ono teyeerabidde kwebaza bazadde be abaamutaddemu ensimbi okwetaba mu mpaka za Africa ezenjawulo omwaka guno gwonna. 

abazinuyi bamazina amaganda nga baaniriza Sana ne muganda we Soubith abaavudde e  Zimbabwe mu mpaka za chess

abazinuyi bamazina amaganda nga baaniriza Sana ne muganda we Soubith abaavudde e Zimbabwe mu mpaka za chess


Uganda yamazeeko empaka zomulundi guno ogwe 16 mu kifo kyakusatu ngta yawangudde emidaali mukaaga okuli ogwa zaabu gumu, egya Feeza ebiri negyekikomo esatu.
Guno gwemulundi Uganda gwekyasinze okukola obulungi mu byafaayo byempaka za chess wabavubuka.
Olunaku olwenkya bannayuganda abalala nabo lwebakomawo nga kubano kuliko Juliet Asaba eyawangudde silver mu bali wansi wemyaka 14, Elvis Tumusiime naye eyawangudde silver mu bali wansi wemyaka 10 ne Apollo Ahumuza eyawangudde bronze mu mutendera gwabali wansi wemyaka 12