Ebyemizannyo

Abaagusambako batandise kampeyini y'okweggya mu bwavu

ABAAGUZANNYAKO abeegattira mu kibiina kya Former Footballers Seniors Foundation bategese ebivvulu ne Afrigo Band mu kaweefube gwebaliko  ow'okussaawo amakubo ag'okusitula embeera y'abaaguzannyako

Moses Matovu ng'akulemeddemu banne okujja ku kitebe kya Vision Group
By: Edward Luyimbaazi, Journalist @New Vision

ABAAGUZANNYAKO abeegattira mu kibiina kya Former Footballers Seniors Foundation bategese ebivvulu ne Afrigo Band mu kaweefube gwebaliko  ow'okussaawo amakubo ag'okusitula embeera y'abaaguzannyako

Paasita Paul Musisi omuyima w'ekibiina kino agambye nti batonzeewo enkolagana ne Band ya Afrigo nga baakutegeka ebivvulu okwetoloola eggwanga lyonna nga Ssente ezivaamu zaakuyamba ku baasamba omupiira basobole okwewalira ddala omuze gw’okusabiriza.

Musisi agamba nti enkolagana eno baagituseeko oluvannyuma lw’okusisinkana omu ku bakulira bbandi ya Afrigo, Moses Matovu era nga ye Muwanika we kibiina kino. Matovu yakkiriza Afrigo okutegeka ebivvulu bino  nga baakutandika n'ekivvulu ekigenda okuberaawo nga September,6,2026 ku Kisaawe kye Ssomero lya Caring Hearts e Wakiso.

Abaagusambako nga bakyaddeko ku kitebe kya Vision Vision Group

Abaagusambako nga bakyaddeko ku kitebe kya Vision Vision Group

Ssente ezinaava mu bivvulu bino Musisi agamba zaakuyambako abaali abasambi b'omupiira mu ngeri ey’enjawulo era balina ettaka lyebagenda okugula e Nakulabye batekeko pulojekiti.

Matovu yagambye nti ye muzannyi wa mupiira eyaguwummula eyagenda mu Ndongo era bweyawulira omulanga guno kyamukwatako nnyo n'asalawo bategeke ebivulu bino.

Ssentebe we kibiina kino Paul Ssali “Gogolimbo” yagambye nti buli wobeera ng’osaba abantu batuuka ne bakukoowa era enkola eno egenda kubayamba nnyo okweggya mu bwavu.

Tags: