Ebyemizannyo

AMBASADDA wa Bungereza mu Uganda Tiffany Kirlew yagabudde tiimu ya Uganda egenda mu mizannyo gya commonwealth ekijjulo

AMBASADDA wa Bungereza mu Uganda Tiffany Kirlew yagabudde tiimu ya Uganda egenda mu mizannyo gya commonwealth ekijjulo  ng'abasiibula okwolekera ekibuga Glasgow ekya Scotland mu mizannyo egitandika nga 23 omwezi guno okutuusa nga ennaku zomwezi bbiri omwezi ogujja. 

Okusiibula abazannyi
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

AMBASADDA wa Bungereza mu Uganda Tiffany Kirlew yagabudde tiimu ya Uganda egenda mu mizannyo gya commonwealth ekijjulo  ng'abasiibula okwolekera ekibuga Glasgow ekya Scotland mu mizannyo egitandika nga 23 omwezi guno okutuusa nga ennaku zomwezi bbiri omwezi ogujja. 
Omukolo ogubasiibula gwabadde mu maka gamukiise wa Bungereza mu Uganda agasangibwa e Kololo era nga gwetabiddwako abakungu abawerako okuva ku kitebe kya Bungereza, abakakiiko ka UOC ne NCS.

Uganda egenda kwetaba mu mizannyo 10 omuli okuwuga okwabaliko obulemu, okusitula obuzito, emisinde, ensero eya 3x3, ebikonde, Judo, egaali nemirala. 

Okusiibula abazannyi

Okusiibula abazannyi


Empaka zomwaka guno okwawukanako nezizze zibeerawo, zezigenda okusooka okugabirwamu emidaali nga bazooka bazanyi abaliko obulemu. 
Ku mulundi guno Uganda egenda kukiikirirwa abazanyi abasoba mu 50 wabula nga gwemulundi ogusoose Uganda okutwala ekibinja kyabazanyi abaliko obulemu nga kinene okuviira ddala mu 1954 uganda lweyasooka okwetaba mu mpaka zino.
Ambassada yatenderezza ekibinja kya Uganda okubeera ekyamaanyi mu mizannyo gino nategeeza nti bamativu nenkolagana gyebalina ne tiimu za Uganda. 
Omuwuzi  Husnah Kukundakwe eyakiikiridde abazanyi yategezezza nga bwebakoleredde akaseera kano okumala ebbanga nga kyekiseera okulaga kyebalinawo. Kukundakwe yayongeddeko nti tebagenda kwetaba bwetabi mu mpaka zino wabula bagenda kuvuganya nekigendererwa ekyokudda nemidaali egiwerako. 

Okusiibula abazannyi

Okusiibula abazannyi


Ssentebe wa NCS Ambrose Tashobya yeeyamye ku lwa gavumenti okuyamba abazanyi bonna abagenda okukiikirira Uganda okutuukiriza ebirooto byabwe. 
Moses Mwase, amyuka pulezident wa commonwealth Games Association of Uganda yayongeddeko nti baakugenda mu maaso nokusindika bannabyamizannyo bonna abaliko obulemu nabataliiko awatali kwawula.
Uganda yeegatta ku mawanga agagwa mu luse olumu ne Bunfereza mu 1962. Nga gyemyaka 75 egiyise era nga okuva ku olwo Uganda yaakawangula omugatte emidaali  92 okuli egya zaabu 21, silver 27, negyekikomo 44.
Tags: