ABAWAGIZI n'abazannyi ba ttiimu y'essaza Bulemeezi bali mu kiyongobero oluvannyuma lw'okufuna amawulire g'omusambi waabwe eyafiiridde mu ddwaliro e Mulago.

Omugenzi Ssebyondwa
Yali atomera omupiira ne beekoona n'omukwasi wa ggoolo n'agwa wansi we bamuggyawo okumuddusa mu ddwaliro e Kasana.
Embeera yeeyongedde okubeera embi ne bamutwala mu ddwaliro e Mulago gy’afiiridde.
Omwogezi wa ttiimu ya Bulemeezi, Emmanuel Mugere ategeezezza nti bafunye encukwe n'asaasira abawagizi ba Bulemeezi, abazadde n'abantu bonna okuviibwako omuntu ow'omugaso.