Ebyemizannyo

Abaliko obulemu bacamudde abe Nabweru mu mupiira

ABALIKO obulemu boolesezza obukodyo mu kucaanga omupiira ku kisaawe e Nabweru bwebabadde bazanya ne tiimu ya Nansana United mu kaweefube w'okunyikiza obuvunanyizibwa bwa buli muntu okukomya okusosola abantu abaliko obulemu.

Omu kubaliko obulemu wakati mu kisaawe e Nabweru
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision
ABALIKO obulemu boolesezza obukodyo mu kucaanga omupiira ku kisaawe e Nabweru bwebabadde bazanya ne tiimu ya Nansana United mu kaweefube w'okunyikiza obuvunanyizibwa bwa buli muntu okukomya okusosola abantu abaliko obulemu.
 
Abaliko Obulemu Mu Kyenvu Nga Basamba Ne Nansana United Ku Kisaawe E Nabweru

Abaliko Obulemu Mu Kyenvu Nga Basamba Ne Nansana United Ku Kisaawe E Nabweru

omupiira guno ogwacaamudde abatuuze be Nabweru gwawedde nga aba Nansana United baguwangudde ku goolo 2;0 kyokka basigadde batenda obukodyo obwayoleseddwa abaliko obulemu abangi obwedda bebanyooma.
 
Twaha Kyambadde ssentebe w'abaliko obulemu mu divizoni ye Nansana yategezezza nga entekateeka eno bwegendereddwa okulaba nga bongera okubangula abatuuze kungeri entuufu gyebalina okukwatiza awamu na baliko obulemu okulaba nga bafuna obulamu obweyagaza.
Abaliko Obulemu Nga Basamba Omupiira Ku Kisaawe E Nabweru

Abaliko Obulemu Nga Basamba Omupiira Ku Kisaawe E Nabweru

kyambadde era yakuutidde abantu abaliko obulemu okukomya okulowooleza mu kusabiriza wabula bafube okwenyigira mu bintu ebibayamba okukyuusa obulamu saako obutenyooma omuli okwenyigira mu pulojekiti za gavumenti ezenjawulo okulaba nga bakyuusa embeera yabwe.
 
ye kkansala Ali Kibirango owa baliko obulemu ku divizoni ye Rubaga yasiimye nnyo kaweefube ono nakutiira abaliko obulemu okukozesa ebitone byabwe mungeri enuungi basobole okuganyulwa mu bitone basaba abazadde ba baana abaliko obulemu okukomya okukweeka n'okusosola abaana abaliko obulemu wabula bafube okubayamba n'okubagala nga abaana abalala.
Tags:
Nabweru
Nansana United
Twaha Kyambadde
abaliko obulemu