Ebyemizannyo

Eyazannyirako Masaka LC yeewaanye

OMUTENDESI wa ttiimu y’essaza lya Budiope, Ronald Lukungu yacamuse n’abuuka mu bbanga oluvannyuma lwa ttiimu ye okukola amaliri ne Bugabula 0-0 n’akulembera ekibinja

Owa BBuggaabbuulla n’’oowwaa bbaattttuunnkkaa..
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Butembe 2-0 Bunhole
Buzaya 0-0 Bulamogi

Bugabula 0-0 Budiope
Bukono 0-0 Bunha
OMUTENDESI wa ttiimu y’essaza lya Budiope, Ronald Lukungu yacamuse n’abuuka mu bbanga oluvannyuma lwa ttiimu ye okukola amaliri ne Bugabula 0-0 n’akulembera ekibinja.
Battunka mu mipiira gy’Amasaza ga Busoga nga kati Budiope y’ekulembedde ekibinja kya Bukowe Hill ku bubonero 5. Omupiira guno gwabadde ku kisaawe e Kamuli ku Lwomukaaga.
“Bangi batulabang’abanafu naye mwattu tubakulembedde era baddemu boogere. Omwaka
guno twetaaga kikopo era tugenda kusigala nga tukola nnyo okutuusa nga tukiwangudde bategeere nti omupiira teguwangulwa bigambo,” Lukungu bwe yategeezezza. Lukungu yaliko omuzibizi era kapiteeni wa Masaka LC ng’ekyali mu liigi ya babinywera.

Tags: