OLUVANNYUMA lw'emyaka 16 ng'avudde mu kuvuga mmotoka z'empaka, Rose Nassonko Lwakataka akomyewo awera.
Omuvuzi ono nga mukyala wa Ponsiano Lwakataka, eyatandika okuvuga mu 2004, abadde yasemba okulabika mu mmotoka zino mu 2010.
Agenda kuvuga mmotoka kika kya Subaru Impreza N12B ebadde eya Lwakataka.
Yeeweredde Doreen Asiimwe oba Suzan Muwonge abamu ku bakazi abagenda okuvuga mu mpaka zino ezituumiddwa Ponsiano Lwakataka Funderising Sprint nga zigenda kuyiribira ku Victoria Raceway Park e Garuga nga September 20. Mulimu n'okujaguza emyaka gya Lwakataka 25 ng’ali mu muzannyo guno.
Zigendereddwaamu okusondera Lwakataka mmotoka empya ekika kya Volkswagen Proto gy'ayagala okugula.
Nassonko yawangulako engule ya USPA ey’omukyala mu muzannyo guno mu 2008.