UPPC 0-1 Lugazi
Villa 2-0 Express
ENNAKU teba y’omu. Wiikendi ewedde, Express baayeeya baggya baabwe, aba KCCA obunafu lugojamye nga tebamanyi nti n’ewaabwe kijja. Baali bakubye (KCCA) ggoolo 2-0 mu liigi ya babinywera mu kisaawe e Nakivubo.
Eggulo abawagizi be bamu abannyogogedde mu kisaawe e Wankulukuku olwa Villa Jjoogo Ssaalongo era ng’emanyiddwa nga Sseggwanga okubakubirayo ggoolo zennyini
(2-0) ze baakuba KCCA. Ggoolo za Villa zaateebeddwa Patrick Kakande mu ddakiika eyookuna ne Andrew Otim mu zongerwamu ng’e 90 kiweddeko. Express nayo yakuba KCCA mu ddakiika ezongerwamu ng’e 90 kiweddeko. Omupiira guno gwayongedde okulaga nga Express (gye baapaatiikako erya Kamunye) bw’ekyali eyeebigere ku Villa. Villa yawezezza obubonero 7 mu mipiira 3 ate Express erina 3 mu mipiira gye
gimu.
Express yayingidd ensiike eno ng’erina essuubi ly’okweggyaako ekikwa ky’obutawangula Villa kyokka byagisaze. Kati emipiira 9 gye basembye okusisinkana, Villa erinako wiini 7, n'amaliri 1 ate Express erinamu wiini emu.
ABATEEBI BAKYABULAMU
Omupiira guno gwajjumbiddwa abawagizi olwa ttiimu zombi okuguyingira ne wiini. Mu bitundu byombi ttiimu zaabadde zitambuzza bulungi omupiira nga tewali
akuba ddiimuula kyokka nga zonoona emikisa.
saac Wagoina owa Express yafunye emikisa 2 egiwedde emirimu ng’abulako kuteeka mupiira mu katimba n’alemwa. Kino kyatuuse ne ku Patrick Kakande
ne Ibrahim Kasinde aba Villa nabo obwedda abakuba emipiira ebweru