Lwakuna mu AFCON;
Tunisia - Uganda
September 29 e Hoima;
Cranes - Libya, 1:00
OLUVANNYUMA lw’emyezi 9 bukya Cranes eva mu AFCON, pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo avuddeyo n’ayogera ku kasiimo ka doola 10,000 ke yasuubiza abazannyi nga yaakayitamu.
Yagambye nti ssente zino Gavumenti yaziyisizza era obudde bwonna abazannyi bagenda kuzifuna. Yabyogedde eggulo mu lukiiko lw’abaamawulire lwe yatuuzizza ku FUFA Stadium Kadiba okwogera ku nteekateeka za Cranes ez’okutegeka AFCON ya 2027 ne kampeyini y’emipiira gy’okusunsulamu abalizeetabamu etandika ku Lwokuna.
Guno gwe mulundi ogusoose Magogo okulabikako mu lukiiko lw’abaamawulire bukya adda mu Palamenti nga omubaka wa Budiope East. Akasiimo yakeeyama oluvannyuma lwa Cranes okuyitawo ttiimu okugenda mu AFCON eyayindira e Morocco wati wa December 2025 ne January w’omwaka guno.
Mu AFCON eyo, kigambibwa nti abazannyi ba Cranes beecanga nga babanja akasiimo kaabwe. Omuzibizi Elio Capradossi, agambibwa okukulemberamu banne okubanja, yammibwa emipiira, omutendesi Paul Put n’ategeeza nti yafuna obuvune ku ssaawa envannyuma.
AFCON 2027 egenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania wabula naye nga zonsatule za kuzannya egy’okusunsulamu. Uganda eggulawo ne Tunisia ku Lwokuna ate nga September 29 ettunke ne Libya mu Hoima City Stadium e Hoima.
Magogo yagambye nti Gavumenti yasuubizza okusasulira Cranes buli kimu omuli; ennyonyi empangise, wooteeri ey’omulembe, okugiwa bbaasi ey’omulembe, n’okusasulira bassita abalungi abali ebweru abalina akakwate ku Uganda okuggumiza ttiimu.