KAPITEENI wa Sunderland ne Switzerland, Granit Xhaka essaawa yonna yandiyingira ekkomera olw'obukuluppya n'akozesa ebiwandiiko ebigingirire ng'alimba ku bulamu bwe mu bugenderevu.
Omuwuwuttanyi ono, yakkirizza nti mu kiseera ensi mwe yalumbibwa ekirwadde kya COVID, yekobaana n'omusawo e Switzerland n'amuwa satifi keeti emukakasa nti yagemwa ekirwadde ekyo ekitaali kituufu.
Xhaka 33, akkiriza nti bino byaliwo mu 2020 ng'akyali mu Arsenal era nti obulimba buno yabutuukako olw'okutya kwe yalina ku ddagala erigema COVID nti lyali lya bulabe eri obulamu bwe.
"Mu mazima, sseeyisa mu ngeri ya buvunaanyizibwa era nsaba munsonyiwe okulimba. Ekijja kyonna nja kukigumira kasita njogedde amazima era mpulira mpewuse omutima,"
bwe yagasseeko. Xhaka yaggyiddwa ku ttiimu ya Switzerland egenda okukyalira
North Macedonia, Scotland n'okukyaza Slovenia mu 'UEFA Nations League' asooke amalirize ensonga ze ne kkooti y'e Lucerne mu Switzerland. Omusango gwe yazza gusobola okumusibya oba okuwa omutango omunene. JOSE Mouriho ne Jude Bellingham aba Real Madrid balangidde ddiifi ri Ortiz Arias eyabalamudde nga bakubwa Atletico Madrid (2-1) ku Ssande okubeera ow'ekibogwe. Mourinho