Ebyemizannyo

Ow’e Bungereza ayingiddewo, ayagala nnamba mu Cranes

OMUYIGGO gw’abazannyi abalungi ebweru wa Uganda abaggumiza Cranes, omutendesi Paul Put agukutte kannabwala.

Nathan Asiimwe azannyira mu Charlton FC.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Lwakuna mu gya AFCON
Tunisia - Uganda; 4:00 ez’ekiro

OMUYIGGO gw’abazannyi abalungi ebweru wa Uganda abaggumiza Cranes, omutendesi Paul Put agukutte kannabwala.
Agamba nti Cranes eneezannya AFCON 2027 ejja kuba ya njawulo nnyo ku eriwo kuba agenda kugyongeramu bassita ab’omuzinzi. Bano nti yabafuna dda ng’ajja kubanjulira South Afrika nga Cranes tennattunka na DR Congo mu gw’omukwano ku ntandikwa y’omwezi ogujja.
Enkya, Cranes lw’eggulawo kampeyini y’emipiira gy’okusunsulamu abalyetaba mu AFCON 2027 ng’ettunka ne Tunisia mu kibuga Tunis. Omuzibizi Nathan Asiimwe, agucangira mu Charlton Athletic eya Championship mu Bungereza talinze by’e South Afrika n’atuuka mu nkambi ya Cranes nga y’omu ku basaba nnamba 2.
Asiimwe, ali ku looni mu Salford City, yaliko mu Hartlepool United, Walsall ne Wimbledon zonna eza Bungereza. Ayagala kuliivula Kenneth Ssemakula, Gavin Kizito oba Toby Sibbick.
Ku ttiimu eri e Tunisia kuliko ne Noble Okello, asuubirwa okugizanyira omulundi ogusooka. Azannya wakati mu Indy Eleven FC ey’ekibinja ekyokubiri mu Amerika. Yakulira Canada era azannyidde ttiimu zaayo zonna ez’eggwanga okuva ku y’abali wansi w’emyaka 17 okutuuka ku ttiimu ya Canada enkulu gye yaakazanyira emipiira 2.
ENKAMBI EJJUDDE
Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein yategeezezza nti abazannyi bonna 28 abalina okubeera e Tunisia, baabadde basuubirwa okuggwayo eggulo kiwe Put omukisa okubawawula obulungi.
Bapulo okuli; ggoolokipa Denis Onyango, Gavin Kizito, Denis Omedi, Joseph Seremba, Baba AlHassan, Allan Okello, Noble Okello, James Bogere, Aziz Kayondo, Travis Mutyaba, Rogers Mato, Hassan Mubiru, Kenneth Semakula, Steven Mukwala, Toby Sibbick, Allan Oyirwoth n’abalala bataka mu nkambi.
SUDAN YEESASUZZA HIPPOS Ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 20 (Hippos) esubiddwa AFCON U17 bwe yakubiddwa Sudan (3-2) e Tanzania eggulo. Omutendesi Laryea Kingston (ku kkono) byamusobedde, Sudan gye baakuba ku Lwomukaaga bwe yabeesasuzza.

Tags: