Ebyemizannyo

Mmotoka etenguye Lwakataka

ABAWAGIZI ba mmotoka z'empaka baakubye Ponsiano Lwakataka olube nti, "Kitalo! Omugole omusajja agaanyi okukuba ssaluti", oluvannyuma lwa mmotoka ye empya okuzikira n'egaana okwaka.

Lwakataka mu Volkswagen empya oluvannyuma lw'okufuna obuzibu e Garuga ku Ssande.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAWAGIZI ba mmotoka z'empaka baakubye Ponsiano Lwakataka olube nti, "Kitalo! Omugole omusajja agaanyi okukuba ssaluti", oluvannyuma lwa mmotoka ye empya okuzikira n'egaana okwaka.
Byabadde ku Victoria Raceway Park e Garuga ku lw'e Ntebe ku Ssande, mu mpaka za 'Ponsiano Lwakataka Fundraising Sprint' ezaalangiddwa okumala omwezi. Zaagendereddwaamu okujaguza  emyaka 25 nga Lwakataka ali mu muzannyo guno n'okumusondera ssente ezimalayo Volkswagen Proto, eyali ey'omugenzi Rajiv Ruparelia.

Abawagizi abaayiise mu bungi e Garuga baakubye enduulu ey'oluleekereeke nga Lwakataka ayingiddewo mu 'kapyata' omulundi ogwasoose ogw'omwetooloolo ng'abbinkana ne Moses Lumala era n'amalako laawundi ng'awanguddwa. Wabulabyakuse ku mwetooloolo ogwokubiri, Proto bwe yagaanyi okwaka, abawagizi ne bagyeyiwako okulaba ogubadde. Baagiyiikidde okugisindika nga bwe baleekaana, "Koleeza, etandike...!" nga buteerere. Ekyaddiridde, kwe kugivaako nga beesooza n'okukuba olube nti, "Kitalo! Omugole agaanyi okukuba ssaluti." Lwakataka yanonye mmotoka ye enkadde (Subaru Impreza N14B) nayo n'ezikirira wakati mu kkubo.
Empaka zaawanguddwa Lumala n'addirirwa mutabani we, Musa Lumala, ne Allan Ggayi. Abavuzi ab'erinnya okuli Ronald Ssebuguzi, Duncan Mubiru 'Kikankane', 'Super Lady' Susan Muwonge, Musa Sseggaabwe ne Yasin Nasser tebalabiseeko.

Tags: