Abayizi ba Seroma Christian High School basatu okuli Benjamin Sekanjako Aaron Ndawula ne Abigail Ndagire bayitiddwa ku tiimu ya uganda eyabamusaayimuto eyomuzannyo gwa badminton abagenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za All Africa Junior Badminton Championships ne BWF World Junior Championships ezigenda okubeera mu kibuga Cairo ekya Misiri.
Empaka za All Africa Junior Championships zaakubaawo wakati wa September 27 okutuusa October 3 ate eza BWF World Junior Championships zitandike nga October 5–17.

Omuyizi ng'azannya Badmonton
Sekanjako asoma siniya eyokubiri yaasinga obumanyirivu ku ttimu eyayitiddwa nga omwaka oguwedde yabadde mu mpaka zamassomero ezensi yonna eza ISF Games e Serbia gyeyakoma ku luzannya olwa quarterfinals ate mu mpaka za ANOCA ezaali mu Algeria yawandukira ku lawundi eye 16.
Bano baakwegattibwako bannantameggwa bempaka za FEASSA mu bawala okuli Thara Semambo ne Ramiah Bukenya aba Mbogo High School saako nebannatameggwa mu balenzi okuli Carlton Kisakye ne Samuel Bisaso aba Kibuli SS. Claire Namirembe owa Rubaga Girls naye yayitiddwa okuweza omuwendo gwabazanyi munana okuli abawala bana nabalenzi bana.
Wabula uganda yaakusubwa obukugu bwa Tendo Kibirige ne Dennis Mukasa, abaalekeddwa olwemisomo.
Omwaka oguwedde uganda teyeetaba mu mpaka ezaali e senegal olwabazanyi abasinga okuba nga baali mu bibuuzo.
Omutendesi wa tiimu Joshua Muguluma mugumu nti bamusaayimuto abaayitidwa basobolera ddala okukomawo nobuwanguzi. “ abaana bali mu mbeera nnungi yadde bato naye ebiseera byabwe ebyomumaaso bitangaavu olwengeri gyebazanyamu era nkakasa bajja kukola bulungi” Muguluma bweyagambye.
Tiimu eri mu kutendekebwa mukadde kano ku ssomero lya Mbogo High School nga basuubirwa okusitula ku lwokuna lwa wiiki eno.