🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Ebyemizannyo

UCU yeddizza engule mu mpaka z'amateeka eza yunivasite

UGANDA Christian University (UCU) enywedde akendo mu yunivasite 45 mu East Africa (Uganda, Kenya, Rwanda ne Tanzania) mu mpaka z’amateeka ezitegekebwa ekitongole kya Unwanted Witness Uganda.

UCU yeddizza engule mu mpaka z'amateeka eza yunivasite
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

UGANDA Christian University (UCU) enywedde akendo mu yunivasite 45 mu East Africa (Uganda, Kenya, Rwanda ne Tanzania) mu mpaka z’amateeka ezitegekebwa ekitongole kya Unwanted Witness Uganda.
Ku luvuganya olw’akamalirizo, UCU yawangudde University of Dar-es Salaam ey’e Tanzania mu mpaka ezaayindidde ku UCU e Mukono ku Lwokubiri. Aba UCU baawangudde engule n'ensimbi obukadde butaano n’ekitundu.

Allan Kigozi Sempala, atwala ebyamateeka mu Unwanted Witness yagambye nti, UCU era yawangudde n’olugendo okugenda mu Accra e Ghana mu November, okwetaba mu nteekateeka eziribeerayo ezikwata ku mulamwa gwe gumu.
Nnankulu wa Unwanted Witness Uganda, Dorothy Mukasa yagambye empaka zino zigendererwamu okukuuma ebikwata ku bantu mu mulembe gwa digito n’enkola ey’okutambuliza ensimbi ku masimu mu mawanga aga East Africa.
Minisita atwala ensonga za ICT, Justine Kasule Lumumba yategeezezza nti empaka zino zeetaagisa naddala mu kiseera kino ng’amawanga ga East Africa gasoosowaza tekinologiya.
UCU yeddiza engule eno oluvannyuma lw’okugiwangula omwaka oguwedde e Tanzania.

Tags: