Ebyemizannyo

Ssaabawandiisi wa NCS DR Ogwel akubirizza abakulira emizannyo mu Africa okugyeyambisa okukyusa embeera

SSAABAWANDIISI w'akiiko akalabirira ebibiina by'emizannyo mu ggwanga aka NCS Dr Bernard Ogwel asabye abatwala eby'emizannyo ku lukalu lwa Africa okukozesa eby'emizannyo okutumbula embeera z'abannansi naddala abavubuka.  

Dr Ogwel n'abakungu abalala
By: Julius Kafuluma, Journalist @New Vision

SSAABAWANDIISI w'akiiko akalabirira ebibiina by'emizannyo mu ggwanga aka NCS Dr Bernard Ogwel asabye abatwala eby'emizannyo ku lukalu lwa Africa okukozesa eby'emizannyo okutumbula embeera z'abannansi naddala abavubuka.

Bino Ogwel yabyogedde bweyabadde aggulawo olukungaana lwamawanga ga africa olwebyemizannyo olwa African Union Sports Council (AUSC) olwatudde mu kibuga kampala olunaku olweggulo.

Dr Ogwel n'omukungu omulala

Dr Ogwel n'omukungu omulala


Olukungaana luno olwomulundi ogwokubiri lwetabiddwamu abakulembeze bebibiina ebiddukanya emizannyo ku lukalu lwa Africa. Abalala abeetabye mu lukungaana luno ku ludda lwa uganda ye Penina kabenge, ssentebe wa NCS ambrose tashobya ne kamisona webyemizannyo mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo Rev. Can. Duncans Mugumya.
 Ebimu ku byatuukiddwakomu lukungaana luno mwemuli okwagazisa amawanga gannamukago okussa mu nkola ebimu ku bizze bikaanyizibwako mu nteekateeka zokutumbuula ebyemizannyo ku lukalu lwa africa.
Ogwel yasinzide mu lukungaana luno nalaga ebituukiddwako mu kisanja kye ekyemyaka ena gyabadde ssentebe wakakiiko kebyemizannyo mu africa aka AUSC. Mu bimu ku byeyanonokeddeyo yengeri akakiiko kano gyekalungamizaa, okukulakulanya nokutuukiriza ebiruubirirwa byakakiiko ebyomwaka 2063. akakiiko kano era kaatongoza engeri eyomulembe emirimu gyabannamukago gyegisobola okugobererwa ku mutimbagano, okuwa embalirira nokukola okusalawo okusinziira ku bwetaavu mu byemizannyo.

Tashobya ne munne

Tashobya ne munne


Olukiiko luno lweluwabula baminisita abatwala ebyemizannyo mu mawanga ga africa era Ogwel bano abasabye okuwabula baminisita bebyemizannyo mu mawanga gyebava okusobola okukulakulanya emizannyo mu mawanga gaabwe.
Olukungaana luno lwellumu ku zikulembera enteekateeka zemizannyo gya Africa egya all african games nga egyomwaka ogujja gyakubeera mu kibuga cairo ekya misiri. Ogwel abuulidde abakiise mu lukungaana luno nga uganda bweri mu kumaliriza ebisaawe byegenda okukozesa okutegeka empaka za africa ezomwaka 2031.
Tags: