Ebyemizannyo

Ogwa Aston Villa gutadde Carrick ku kigezo

NGA Chelsea yaakakuba ManU ggoolo eyookubiri wiikendi ewedde, omuwagizi eyali anninaanye gwe baali bayita Musomesa mu bbaala ya Ppaasita e Mpereerwe, yayimukan’agamba munne nti “Gamba madaamu, ag’akawunga bagazzeeko.

Bruno Fernandes owa ManU ng’akuba ennyanda ku ggoolo ya Aston Villa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NGA Chelsea yaakakuba ManU ggoolo eyookubiri wiikendi ewedde, omuwagizi eyali anninaanye gwe baali bayita Musomesa mu bbaala ya Ppaasita e Mpereerwe, yayimuka
n’agamba munne nti “Gamba madaamu, ag’akawunga bagazzeeko.

 

Eno ManU ekiyiye.” Banne abaamuli okumpi nga bawulikika nga abawagizi ba Arsenal, baabwatuka ne baseka. Oluvannyuma waliwo eyamukuba olwali nti “Obadde osuubira ki mu ManU?”

Eyo ye ManU y’ennaku zino. Ewa aba Arsenal essanyu ate n’enakuwaza abawagizi baayo okujula okugyegaana. Ku ManU buli omu gy’abadde amanyi, wali weetaaga obuvumu obw’amaanyi okulowooza nti esobola okukuba Chelsea kuba teriiko waka na ku bugenyi. ezannya bubi.

Carrick Ng’aliko Byannyonnyola Bruno Fernandes.

Carrick Ng’aliko Byannyonnyola Bruno Fernandes.


Omutendesi waayo, Michael Carrick amaze ebbanga ku bunkenke nga buli kiseera kirowoozebwa nti waakugobwa olw’omutindo ogw’ekibogwe. Kyokka ku Lwokubiri mu Champions League, yalidde ku kamere n’awoomerwa olw’okufunayo obuwanguzi, obwasoose mu mipiira 9.

Wabula Carrick era nga bulijjo, yasoose kulumya bawagizi be nga Roma emukulembedde
ggoolo 2-0 mu kitundu ekisooka. Abawagizi ba ManU baatandise okukasuka obucupa mu kisaawe ng’ekitundu ekisooka kiwedde.


Bulijjo ManU ya Carrick ezannya bubi naddala mu kitundu ekyokubiri kyokka ku Roma, yagezezzaako era mwe yakubidde ggoolo ez’obuwanguzi. “Twetaaga okuzannya nga bwe tukoze ku Roma. Eno ye ManU entuufu era njagala mulumbe Aston Villa mugikube
tukkakkanye puleesa,” eyaliko ssita wa ManU, Rio Ferdinand bwe yategeezezza ng’omupiira gwa Roma guwedde. Yasoose kuyomba mu kitundu ekisooka.


Aston Villa ya Unai Emery si mmere kuba yakuba Man City ne Newcastle era eyinza obutakola nsobi nga Roma ze yakoze omwabadde n’omuzibizi waayo okwawula omupiira. Naye ekirungi, ManU ekuba Aston Villa.

Aston Villa erina wiini emu yokka ku mipiira 10 gy’esembyeyo okukyala ku Old Traff ord. Wiini eno yaliwo mu 2021. Eno ye wiini yaayo eyasookawo okuva mu 2009.

Tags: