EBIZIBU bya Chelsea okugiteeba ennyo, omutendesi waayo, Xabi Alonso azudde nga biva ku muwuwuttanyi abugiriza ekisenge.
Kigambibwa nti yasabye bakama be mu katale k'abazannyi aka January, bamugulire Martin Zubimendi, ali ku katebe mu Arsenal. Zubimendi 27, ne Alonso bombi nzaalwa z'e Spain. Chelsea yaakamira ggoolo 16 mipiira 10.