Uganda 1-1 Botswana
Tunisia 0-2 Libya
Enkya (Lwakubiri);
Botswana – Uganda e Gaborone
Libya - Tunisia
EKISUUBIZO FUFA kye yawa Khalid Aucho, okuduumira Cranes omulundi ogusembayong’ettunka ne Botswana, asiibule abawagizi baayo mu butongole, kyafuuse empewo bwe yakomye ku kuteekebwa mu ttiimu y’olunaku naye n’atazannya wadde eddakiika emu.
Omwezi oguwedde, Aucho yalangirira bw’awumudde okuzannyira Cranes oluvannyuma
lw’emyaka 13 nga 3 egisembyeyo agimaze ye kapiteeni. FUFA yavaayo n’erangirira entegeka z’okumusiibula mu butongole nga zaabadde za ku mupiira, Cranes gwe yalemaganye ne Botswana (1-1) mu Hoima City Stadium e Hoima ku Lwomukaaga.
Ebbugumu ly’ensiike eno FUFA erizimbidde nnyo ku kusiibula Aucho ng’entegeka zaali za ye okukukulembera ttiimu, mu ddakiika eyoomunana omupiira guyimiriremu olwa nnamba 8 ey’omujoozi gw’abadde ayambala mu Cranes, awuubire abawagizi nga bazannyi banne bwe bamukubira mu ngalo.
Bino byonna byafuuse empewo, Aucho bwe yakomye ku usomerwa mu ttiimu y’olunaku kwokka nga ggoolokipa Denis Onyango ye yagikulembedde okuva mu kasenge, mu ddakiika eyoomunaana tewali kyabaddewo, sso nga n’omutendesi Paul Put teyamukookoonyezza wadde eddakiika emu ku kisaawe.
Nnamba 6 ne 8 z’abadde azannya, zaabaddemu Bobos Byaruhanga ne Alhassan Baba. Okumuweweeza omutima, omupiira olwawedde, baakozeewo entegeka ez’amangu, pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo n’akwasa Aucho ekifaananyi kye (ekisiige), abazannyi ba Cranes ne Botswana ne bayimirira erudda n’erudda, n’abayita wakati nga bwe bamukubira mu ngalo.
ABAWAGIZI BAYOMBYE
Abawagizi abamu baawuliddwa nga beemulugunya nti, “Okuggyako ennugu n’obutaba na buntubulamu, kiki ekigaanyi Put okuwaamu Aucho? Wadde eddakiika ebbiri ku mupiira ogumusiibula!” Abalala baayombye nti, “Omusajja ne bamuyita, n’akola ettiizi mu nkambi, ne FUFA n’efulumya ekiwandiiko kya pulogulaamu emusiibula, ate bamukomya batya ku katebe! Baayagadde kumulabisa.” Waliwo abeebuuzizza nti, “ Okuyingiza Bockhorn, Mutyaba, Omedi ne Ssebuufu lwaki tebaawaddemu ku Aucho kubanga twayitamu dda nga abategesi?”
PUT ANNYONNYODDE
Oluvanyuma Put yategeezezza nti Aucho yagya mu nkambi ng’alina obuvune
nga yandibadde nsobi nnene okumuzanyisa omupiira ogw’ekigendererwa eky’amaanyi bwe gutyo.
Put azze akyogera lunye nti waakutandisanga bazannyi abo bokka abazannya ku kiraabu zaabwe era ye nsonga lwaki ne Allan Okello, abawagizi bakira we basaba amuyingizeemu yamulese ku katebe. Kigambibwa nti FUFA yatidde okuleeta olusaago mu mupiira guno ng’ebya Aucho byabadde biyinza okugiviirako obuzibu mu CAF ne FIFA kuba eby’okusiiima n’okusiibula abazannyi bitera kukolebwa mu mipiira gya mikolo.
AUCHO MUMATIVU
“Ndi musanyufu olw’omukwano gwe mundaze naddala mmwe abawagizi, okuviira ddala ku Pulezidenti Museveni, abatendesi, FUFA n’abalala. Ssi bazannyi bangi abaweereddwa omukisa guno okusiibulwa ku Cranes mu kitiibwa. Kino kinnyongedde essanyu. Cranes nkomye leero okugizannyira wabula ng’enda kusigala nga ngiweereza mu biti ebyenjawulo.” Cranes y’ekulembedde ekibinja H n’obubonero 5, Libya
4, Botswana 3 ate Tunisia 2. Enkya, Cranes edding’ana ne Botswana e Gaborone ate Libya ekyaze Tunisia. AFCON 2027 egenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania.