Ekibiina ekitwala emizannyo gy'abaliko obulemu ekya National Paralympic Committee (NPC) kittukizza kaweefube wokuteekateeka ttiimu egenda okukiikirira eggwanga mu mizannyo gyabaliko obulemu egigenda okubeera mu ggwanga lya Amerika mu 2028.

Aggrey Mwanje ng'akanyuga akazito
Kaweefube ono bamutandikidde mu district ye Masaka nga eno abazanyi 50 baayitiddwa okugezesebwa webatuuse okuva webaalondebwa mu mizannyo gyabaliko obulemu egyali mu district ye Soroti mu mwezi ogwomwenda. Bano baakungaanide ku yunivasite ya Muteesa 1 mu kibuga Masaka.

Omu ku beetabye mu mpaka z'abaliko obulemu ng'akanyuga olunyago
Brian Rubangakene ne Kaddu Venswa, abavuganya mu mutendera gwa T47 beebasinze mu mbiro eza mmita 400 ate Fred Masisa ne Deus Mugisa abomutendera gwa T11 nebanywa mu banaabwe akendo mu za mmita 100.
Mukukanyuga olunyago nakazito Aggrey Mwanje, Alex Yiga ne Mark Cherotich beebasinze okulabika obulungi mu kugezesebwa okwabadde e masaka.

Aggrey Mwanje ng'akanyuga akazito
Akulira byemimiru mu kibiina kya NPC Patrick Synole yategezezza nti mu mpaka za 2018 ezignda okubeera mu amerika baluubirira okutwala abazanyi waakiri 15 okuvuganya.
Abazanyi abaalondeddwamu bagenda kwegatta ku tiimu yeggwanga eri mu kutendekebwa mu nkambi ezenjawulo ku Bugema University e Busiika ne mu districy ye Kapchorwa.
Bano oluvannyuma baakulondebwamu abanaakiikirira eggwanga mu mpaka za Dubai Grand Prix, ezigenda okubeerayo ku ntandikwa yomwaka ogujja ezokukozesebwa okwetaba mu mpaka za World Para Athletics Championships mu kibuga Tashkent ekya Uzbekistan.

Vn 86
Empaka za Dubai era zaakukozesebwa okwekeneenya oba obulemu bwabamu ku bazanyi bubasobzesa okwetaba mu mpaka zabaliko obulemu ezensi yonna