Ebyemizannyo

EXPRESS;Abatendesi bagyepena

EXPRESS esobeddwa. Omuyiggo ku mutendesi asikira Morley Byekwaso gukyagiremeredde nga buli gw’etuukirira ajuliza ensonga ez’enjawulo.Kiddiridde ttiimu eno okuvuya mu liigi ya babinywera sizoni eno nga ku mipiira 10 erinamu wiini 2 zokka. Eri mu kifo kya 14 ku ttiimu 18.

George Kato (ku kkono) owa Vipers ng’attunka ne Alpha Ssali owa Express.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Express 0-2 Vipers
Leero mu liigi, 10:00

Blacks Power - UPPC, Bukedea
UPDF - Mbarara, Nakivubo
EXPRESS esobeddwa. Omuyiggo ku mutendesi asikira Morley Byekwaso gukyagiremeredde nga buli gw’etuukirira ajuliza ensonga ez’enjawulo.
Kiddiridde ttiimu eno okuvuya mu liigi ya babinywera sizoni eno nga ku mipiira 10 erinamu wiini 2 zokka. Eri mu kifo kya 14 ku ttiimu 18.
Omutindo guno omubi gutadde Morley ku bunkenke nga kigambibwa nti bakama be batuukiridde abatendesi abenjawulo okumusikira kyokka nga bakyajepena.
Ensonda zaagambye nti baatuukiridde Hassan Zungu, atendeka essomero lya Kitende, eyabagambye nti akyali mumativu ne gy’akolera. Kigambibwa nti baalowoozezza ne ku Joseph Mutyaa, eyagobwa Kigezi HomeBoyz nga naye yagambye nti yafunye dda mu Ntugasaze FC.
Ku Ssande, Express yakubiddwa Vipers (2-0) e Nakivubo, ekyayongedde okussa Morley mu matigga kuba ne Vipers ekola bubi sizoni eno. Express yawangula KCCA (2-0) ne Blacks Power (3-2) nga ze zokka z’ekubye sizoni eno.
Akulira emirimu mu Express, Becky Cynthia Nakimera yategeezezza eggulo nti yabadde mu lukiiko kyokka bwe wanaabaawo ekiriwo ku by’omutendesi waakukyogerako mu budde obutuufu.
Express ekomawo mu nsiike okuttunka ne UPPC nga (December 3) e Nakivubo.

Tags: