Ebyemizannyo

EKISAAKATE ky’ebyemizannyo ekya Future Stars eky'omulundi ogw'okubiri kyatongozeddwa ku Gayaza Junior School.

EKISAAKATE ky’ebyemizannyo ekya Future Stars Multi-Sport Residential Holiday Training Camp eky'omulundi ogw'oekubiri kyatongozeddwa ku Gayaza Junior School.

Ekisaakaate kya Future Stars nga kitongozebwa ku Gayaza High
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKISAAKATE ky’ebyemizannyo ekya Future Stars Multi-Sport Residential Holiday Training Camp eky'omulundi ogw'okubiri kyatongozeddwa ku Gayaza Junior School. 

Okutongoza ekisaakaate kya Future stars

Okutongoza ekisaakaate kya Future stars

Omukolo gwetabiddwako abakungu n’abatendesi abaakulembeddwamu Ruth Meeme amyuka omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'omuzannyo gw'okubaka eya She Cranes wamu ne kapiteeni wa She Cranes, Racheal Nanyonga era nga be bagenda okuvunaanyizbwa ku kutendeka omuzannyo gw’okubaka. 
Ku mulundi guno, abaana abagenda okwetaba mu kisaakate ky’omwaka guno eky’ebyemizannyo, baakufuna omukisa okubangula mu bukoddyo obwenjawulo obw’omuzannyo gw’Abamerika ogwa Baseball ne Softball. 
Ekisaakate kino eky’ebyemizannyo kyakubeera ku ssomero lya Gayaza Junior School ne Gayaza Huigh School era akulira Gayaza High School, Robinah Kizito ayogedde ku bulungi bw’okuwa omwana omukisa okuyiga eby’ebyemizannyo. 

Abamu ku baana abagenda okwetaba mu kampu nga bali ku mukolo gw'okutongoza

Abamu ku baana abagenda okwetaba mu kampu nga bali ku mukolo gw'okutongoza


 Future Stars Holiday Sports Camp etandika nga 06 ppaka 13 omwezi ogujja ng’abaana okuva ku myaka 6-18, baakubangulwa mu mizannyo egyenjawulo omuli, Omupiira, Basketball, Okuwuga, Okubaka, Badminton, Table Tennis, Lawn Tennis, Chess, Scrabble, Baseball ne Softball ku Gayaza Junior School ne Gayaza High School.
Tags: