Dr. Anita Tumwebaze Muhumuza, omusawo w’abaana abaakazaalibwa era nga y’akulira woodi y’abaana abaakazaalibwa e Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital agamba nti, okuziyiza endwadde eziyinza okulumba omwana ono kye kisinga obukulu naddala ng’okuuma obuyonjo n’okumugabirira mu by’aliiramu, we yeebaka ne by’ayambala.

Omusawo ng'asomesa bw'olabirira omwana atannatuuka
Era omwana ono alina okuba ng’azannya naye wadde nga mutono, kuba bw’aba azannya bulungi, kamu ku bubonero akalaga nti, mulamu bulungi.
Olina okumukuumira ebbugumu; Mu mbeera eno, tukozesa enkola ey’okuweekera omwana mu kifuba wakati w’amabeere, lususu ku lususu n’omusibirawo.
Bw’abeera mu kifuba kikusobozesa okumulabirira, osobola okumuyonsezaawo ate n’osigala nga okola emirimu gyo.
Era olina okumuzza mu ddwaaliro omusawo n’amwetegereza okulaba oba ng’akula bulungi, agejja, alaba bulungi, ensingo asobola okugitereeza, alina langi y’olususu ennungi n’ebirala.
Okumugabirira obulungi; Mu mbeera eno, olina okumukamulira amabeere. Bwe tuba tugabirira omwana azaaliddwa nga tannatuuka, olunaku olusooka olw’obulamu bwe naddala nga tannaweza kkiro emu n’obutundutundu butaano, tetubaliisiza mu kamwa kubanga babeera tebannatereera.
Batera okubeera n’obuzibu mu kussa ate nga beetaaga okuba n’ebbugumu. Mu mbeera eno, tubawa amazzi agalimu sukaali (glucose) mu misuwa nga gapimiddwa mu bipimo ebituufu nga omusawo bw’aba asazeewo.
Ku lunaku olwokubiri ng’awezezza kkiro emu n’ekitundu, tubayisaamu akaseke ne tutandika okubagabirira ku mata era ng’omusawo bw’abeera akulagidde, oluusi tutandika ne miiru emu oba bbiri.
Olw’okuba omwana abeera akyali bubi, omwana amata tugamuweera mu kaseke naye tulagirira maama engeri gy’alina okukikolamu kuba tubeera twagala okulaba oba ng’amabeere ge tuwa omwana ddala agakozesa.
Tubayigiriza okuyonka ebbeere wabula maama asooka n’agakamulamu n’agatereka mu kintu ekiyonjo era mu kifo awayonjo n’alyoka ayonsa omwana ayige okuyonkako akaseera katono, olwo n’alyoka amuwa amabeere ge yakamudde ng’agayisa mu kaseke.
Bw’agasindika mu kaseke agaleka ne gakkirira gokka mpolampola ne gaggwaamu era olumala ng’amuteeka mu kifuba ng’abuguma.
Bw’aba amuyonsa oba ng’amugabirira, amutunuulira mu maaso okulaba nga takyuka mu mbeera ate era tubakubiriza okubakomyawo mu ddwaaliro babapime tulabe obuzito bwe yeeyongeddeko kuba kituyamba okugeraageranya, by’alya oba bimugasa oba okumumala.