Ebigambo eby'amagezi ne Margaret Nankinga
Aug 17, 2021
BWE muba nga mwenna mutambulira wamu okugenda mu maaso, obuwanguzi bwekola bwokka (Henry Ford).
By Margaret Nankinga
Journalist @New Vision
Ebya ‘munaku kaama yeerandiza yekka’ tebikola, obuwanguzi ojja kubutuukako nga waliwo abakuyambyeko (George Shinn).
Bwe muba musobola okusekera awamu, musobola okukolera awamu (Robert Orben).
Bw’oba tosobola kusukkuluma olwa ttalanta yo, wangula ng’ossaamu amaanyi mangi (Dave Weinbaum).
Tewejjusanga. Bwe kiba kirungi, ekyo kiyitirivu, bwe kiba kibi kasita obeera ofunyeemu ekyokuyiga (The Duke).
Gy’okoma okugaggawala n’ebizibu okukweyongera (Benjamin Franklin).
Okwesasuza kulinga kuluma mbwa kubanga nayo ekulumye (Austin O’Malley).
Buli omu ayere oluggya lwe, olwo ensi yonna ejja kuba nnyonjo (Johann Wolfgang Von Goethe).
Kisingako okukyayibwa olwa ky’oli okusinga okwagalibwa olwa ky’otoli (Andre Gide).
Bw’oba tomanyi gw’osaanidde kukyawa, weekyawe (Silent blue).
Okubeera omugezi tekirina kye kikugasa nga tolina gw’owa kitiibwa (Johann Wolfgang von Goethe).
Omukazi ayinza okukwagala oba obutakwagala, tayinza kuba nnampawengwa (Chuck Palahniuk).
Toyinza kukyawa bantu balala okuggyako nga naawe weekyaye (Oprah Winfrey).
Oyo alina obulamu alina essuubi, n’oyo alina essuubi alina buli kimu (Njogera).
Kisingako okuba n’amaaso agatalaba, oba okubeera n’amatu agatawulira sinakindi okuba n’emimwa egitayogera okusinga okuba n’omutima ogutasobola kwagala (Robert Tizon).
Yonna gy’olaga, genda n’omutima gwo gwonna (Confucius).
Bw’osomesa obwongo kyokka n’otosomesa mutima oba tolina by’osomesezza (Aristotle).
Omulimu bwe guba nga gusaana okukolebwa, gusaana okukolebwa obulungi (Njogera).
Kiruma nnyo okwagala omuntu nga ye takwagala naye ekisinga okuluma kwe kwagala omuntu n’otofuna buvumu kumubuulira nti omwagala (Tamanyiddwa).
Buli ky’ofiirwa ate obaako ky’ofuna era mu buli ky’ofuna ate obaako ne ky’ofiirwa (Ralph Waldo).
No Comment