Wuuno omukazi alojja ennaku y'obupangisa

Nov 03, 2021

ENNAKU y’okupangisa buli omu agirojja lulwe ng’abamu batuuka n’okugamba nti bw’owona obupangisa oba owonye bulwadde nga Shamira Nakwejjwe 27 bw’annyonnyola:

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Moses Lemisa

ENNAKU y’okupangisa buli omu agirojja lulwe ng’abamu batuuka n’okugamba nti bw’owona obupangisa oba owonye bulwadde nga Shamira Nakwejjwe 27 bw’annyonnyola:

Mbadde mpangisa mu Ssebaggala Zooni e Kawempe wabula ababbi banziba ku ntandikwa y’omwezi oguwedde  ne  baatwala buli kintu ekyampalirizza okufuna enju endala nsengukewo nga ntya nti nnyinza okuddamu okugula ebintu ebirala ne baddamu okunziba.

Bulooka w’amayumba mu Ssebina Zooni ku Kaleerwe yantwala n’andaga nnannyini mayumba  ng’enju eyali yali temuli semiti n’endabirwamu mu luggi wadde mu madirisa.

Omukyala nnannyini zo yansaba  260,000/ okugirongoosa  n’ampa ennaku ssatu naye kati tugenda mu mwezi enju tagirongoosanga.

Ensonga nazitutte ku  LC y’omu kitundu n’entegeeza nti omukyala oyo nabo bamutya si mwangu ne bansindika ku poliisi bwe yayitiddwa yagambye nti ye amanyi amateeka mugumiikirize ssente  bw’aliba azifunye alinkubira essimu, simanyi kiddako kuba nnannyini mayumba gye mbadde nsula yampa omwezi gumu guweddeko angamba muviire .

Mbadde nnina Hard Ware gye nkolera  bangobye kuba mbadde neewuuba okulaba enju oba yawedde.

 Nsaba bannannyini mayumba agapangisibwa  okuwa abapangisa ekitiibwa kubanga we batali, tebasobola kufuna ssente. Kati nze sirina yadde ennusu ssente zange yazitwala agaanyi okuzinziriza .

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});