Obubbi busudde bizinensi ezisinga

Jan 06, 2022

OBUBBI y’emu ku nsonga evaako bizinensi za Uganda okugwa wadde ng’ekitogole kya Global Entrepreneurship Monitor kyalan­girira Uganda ng’ensi esinga okubeeramu abantu abatandika bizinensi buli lukya.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Herbert Musoke

OBUBBI y’emu ku nsonga evaako bizinensi za Uganda okugwa wadde ng’ekitogole kya Global Entrepreneurship Monitor kyalan­girira Uganda ng’ensi esinga okubeeramu abantu abatandika bizinensi buli lukya.

Okimanyi nti omukozi ayinza okukola ed­duuka mu dduuka lyo era nga mw’atundira erirye ng’eriryo bwe ligwa!

 Vincent Atuhaire, musuubuzi wa ngatto ku kizimbe kya Mukwano Arcade mu Kampala. Agamba nti gye buvuddeko yafi­irwa ssente ne bizinensi n’etuuka okugwa ng’omukozi gwe yali akozesa emmaali gy’atunda agenda n’agisuubula n’agizzaawo.

“Omukozi gwe nnafuna teyali mwesigwa ng’atunda engatto ate n’agenda agisuubula n’agizzaawo olwo n’antegeeza nti teyakoze. Ebbanga lyagenda liyitawo nga nnina okusasula ez’obupangisa ate n’omusaala gwe kyokka nga sikola okukkakkana nga ntandise kukwata mu kapito,” bw’agamba.

Robert Ssenkasi Kakeeto omusomesa w’ebyenfuna ku Makerere University Busi­ness School (MUBS) era nnannyini dduuka ly’amasimu erya Trustfones Uganda mu Kampala, agamba nti ebimu ku bisinze oku­suula bizinensi z’abantu nga tebategedde kubbibwa.

“Edda nnatandikawo bizinensi ku kisaawe kya Nakivubo nga nnina omuntu gwe nneesiga. Oluvannyuma lw’akaseera Naki­vubo n’egaba liizi y’okuzimba obuyumba obulala nga ew’omusajja oyo gwe tulina okunoonya. Nnatwala omuvubuka nga mulagawo nga mmuwa ssente kuba nnali bbize era ye yasasula wadde lisiiti baagissa mu mannya gange. Byonna ebikwata ku dduuka ye yabikolanga.

Bakasitooma Mu Dduuka Erimu Mu Kampala.

Bakasitooma Mu Dduuka Erimu Mu Kampala.

Emyezi mukaaga gye twasasula okusooka gyali gibulako omwezi gumu, n’asasula emirala mukaaga mu mannya ge, ng’enda okutuuka eri bannannyini maduuka ne bantegeeza nti bbo tebammanyi, wabula bamanyi mukozi. Nagenda ku poliisi ne nzigulawo omusango ku CPS.

Wabula omuwaabi wa gavumenti yaw­abula nti okusinziira ku biriwo, emmaali eri mu dduuka yange wabula edduuka/ ekifo kya Sam. Wano yali ammaze era nnakwatamu bwange ng’omukulu assaamu mmaali ng’edduuka litojjera,” bw’anyumya.

 Agamba nti obubbi buno bubeerawo mu ngeri ez’enjawulo ate nga n’omuntu anaakubba alina by’asooka okukola olwo n’atandika okukusomola mpolampola nga tosobola na kumuteebereza.

l Okukutegeerera: Bw’ofuna omu­kozi yenna asooka kukutegeera n’amanya obunafu bwo n’amaanyi ng’ayita mu ddi lw’okola ne lw’otakola, essaawa z’oyingira n’okunnyuka, obudde bw’owummula, lw’ogenda okulya. Wano akumanya entegeera yo n’embala yo kuba omukozi abeera ng’omukyala mu maka bw’ategeera bba. Mu mbeera eno otuuka ekiseera nga buli akubuuza ekintu gw’oyita olwo ng’akutegedde ebitundu nga 80 ku 100. Kino mu lulimi olusuubuzi kye kiyitibwa okukukwata omuzimu!

1. Okukulowooleza: Oluvannyuma lw’akaseera omuntu ono otuuka n’omwesiga olwo n’atandika n’okukussaamu ebirowoozo bye. Wano atuuka nga n’okusuubula ekintu ky’atakubako njawulo takuwagira kukisuu­bula oba singa omutuma okusuubula asuubula ebyo byokka by’afunako olwo ne kitegeeza nti bizinensi kati mugifunamu babiri.

2. Okubalira ku bintu mu masa: Mu basu­ubuzi abatalina nnyo budde bwa bizinensi oba abalina emmaali ennyingi mu dduuka, omukozi asobola okubitunda n’abimalamu olwo ne basembeza bbookisi mu maaso ku masa. Bizinensi ewulira ngalo za nnan­nyini yo! Wano ggwe nnannyini bizinensi genda ng’okwata ku bbookisi z’emmaali yo ng’alongoosa, oyinza okwewuunya nga buli emu egwayo bugwi. Kakasa nti amaaso n’emikono byonna biri ku bizinensi.

3.Okwewola emmaali: Waliwo abasu­ubuzi abalwawo okugenda ku bizinensi zaabwe ate ng’abamu bwe babeera bagenda basooka na kukubira bakozi ssimu. Wano bwe babeera babba, olumanya nti ojja ng’agenda ewa muliraanwa nga yeewola emmaali olwo ogenda okutuuka ng’emmaali ejjudde nga ggwe weewaana, olowooza nti oli ku kituufu.

4.Enkolagana mu bakozi: Ggwe alina emmaali engazi, gamba olina sitoowa, ate n’edduuka w’otundira ng’emmaali etambuz­ibwa etyo, abakozi bo basobola okukwata­gana ne bakubba mu ngeri gy’otasobola na kukkiriza ne batuuka n’okukwatagana ne bakasitoma. Waliwo omusuubuzi w’ebizimbisibwa e Nakasero naye yakwata abakozi be nga bwe bamala okukuba lisiiti y’amabaati 50, afulumya 60 olwo n’akubira omuguzi nti ntaddemu emmaali. Olwo ggwe bw’obeera ebbaati olitunda 50,000/- ye alimuguza 30,000/- nga kino kitegeeza nti okola loosi ya 500,000/-. Ssinga obeera oguzizza abantu 10, kitegeeza ofiirwa obu­kadde butaano olunaku.

5.Okubbira mu konteyina: Ku basuubuzi abayingiza emmaali, otandika okubbibwa okuva ku mwalo e Mombasa, mu kkubo ate ne ku sitoowa ng’otikkula. Bano babinula konteyina olwo ne bagenda nga buli bbookisi bagikubye omukono nga bw’olaba ettooke ku mmotoka olwo ggwe n’olaba konteyina nga nsibe bu­lungi so ng’emmaali yonna yabbibwamu dda.

6. Obubbi bw’empapula: Wano abakozesa beesiga abakozi ne batuuka n’okuweebwa obuyinza okuwandiisa bizinensi n’oluusi ne babeera abamu ku bakkirizibwa okussa omukono mu kug­gyayo ssente olwo ne nnamba y’omusolo (TIN) n’ossaayo yiye. Omuntu ataddeyo TIN kumpi bizinensi ebeera efuuse yiye ogenda okumaliriza nga kkampuni agikutwalako.

7. Abakuguza: Mu bizinensi mulimu abantu b’enkizo okuli ggwe, omu­kozi, kasitoma n’akuwa ebyamaguzi. Mu mbeera singa akuwa ebyamaguzi akimanya nti tomanyi bigenda mu maaso, asobola okusigala ng’akusuubuza ku bbeeyi y’emu mu butamanya. Mu ngeri y’emu waliwo kkampuni lwe zigaba eby’obwereere gamba firiigi, kyokka olw’okuba omukozi akola­gana n’akuwa ebyamaguzi bagenda kubikuguza.

 

8. Okutundira mu bizinensi yo: Osobola okusuubula nga n’omukozi wo asuubula. Wano omukozesa mmuwa amagezi nti tewandiraze mu­kozi ntambula ya bizinensi yo 100 ku 100. Omukozi tomulaga gy’osuubula, bbeeyi n’ebirala kuba agenda kutan­dika okusuubula ebintu by’ennyini by’otunda otuuke okuba nga tokyatun­da. Abamu bateeka mu seefu, abalala mu busawo ate abalala wa muliraanwa n’atuuka okulemesanga kasitoma ky’ayagadde okugula n’amusindika ewa muliraanwa agule ekikye.

9.Okwekubira lisiiti: Waliwo aba­kozi abamu abakozesa lisiiti ezaabwe olwo bakasitoma baaguza emmaali abagabira lisiiti ze. Waliwo abantu abalina obunafu mu kubala sitooko oba nga mungi ddala ng’olina kubala luvannyuma lwa wiiki oba mwezi nga kino kitegeeza nti singa obeera toliiwo, asobola okutunda emmaali n’amuwa lisiiti ye.

Kizibu ono okumuzuula okuggyako ng’otunda bintu ebisobola okuzzibwa, era kasitoma omu lw’akizza n’akulaga lisiiti gy’agamba nti gye mwamuwa era ng’ofunye omukisa n’osangibwawo, lw’ojja okukizuula nti baakubba dda. Kyokka ggwe atunda ebitasobola kuzzibwa gamba ebiviiri, screen guard, obusawo bw’essimu n’ebirala obeera mu buzibu, oyinza obutamukwata.

10. Obutamanya: Waliwo abakozesa abamu abaleeta abakozi ne babaleka mu dduuka nga tebannamanya kyakukola olwo abaguzi nabo ne batwala akakisa ako okumukozesa ensobi ogenda okudda ng’atunze 10 ne bamubba 5.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});